TOP

Ebintu ebikuwonya abaserikale b’oku nguudo okukukwata

By Musasi wa Bukedde

Added 16th April 2019

Ebintu ebikulu by'osaanye okukola okwewala okukwatibwa abaserikale b'oku nguudo

Dscn6228webuse 703x422

Makanika ng'akebera mmotoka oba ekola bulungi

Bya Stella Naigino

Abavuzi b’ebidduka naddala abatakisi beesanga mu ntalo n’abaserikale b’oku nguudo n’abamu mmotoka zaabwe ne zitemwako ennamba olw’okumenya amateeka ag’oku nguudo n’ago agafuga ebidduka.

Kino emirundi mingi kitwala ssente nnyingi n’ebiseera olwo omugagga n’afiirwa ebitagambika mu kiseera ky’amala nga mmotoka ye tekola, oba bw’eba ya buyonjo nnannyini yon aye ataataaganyizibwa mu mitimu gye.

Dr. Steven Kasiima, akulira Poliisi y’ebidduka agamba nti olumu abavuzi b’ebidduka tebabeera na bisaanyizo nga pamiti n’ebirala era ng’amateeka g’ebidduka gamukwata.

Okwewala bino, abavuzi b’ebidduka balina okukakasa nti:

 akanika nga yeekebejja mmotoka eri ku lunnya okulaba nga terina buzibu Makanika nga yeekebejja mmotoka eri ku lunnya okulaba nga terina buzibu

 

  1. Mmotoka gy’ovuga eri mu mbeera nnungi.

Buli lw’ovuga mmotoka ng’erina obuzibu, obeera oteeka obulamu bw’abo b’otwala n’abalala abali ku kkubo mu katyabaga era omuserikale w’oku luguudo w’akusangira  abeera alina okukukwata. Nga tonnatandika kuvuga mmotoka, kebera emipiira, yingini n’ebirala okakase nti biri mu mbeera nnungi.

  1. Kakasa nti olina pamiti entuufu. Kasiima agamba nti, abantu abamu bavuga mmotoka nga balima pamiti enjingirire. Kino kibi era bw’okwatibwa ovunaanibwa era n’osasula ebisale okusinziira ku mateeka agafuga ebidduka.
  2. Goberera amateeka agafuga ebidduka.

Kasiima agamba nti, buli wamu waliwo amateeka agafuga ebidduka era nga kino kikolebwa kukendeeza ku bubenje.

Ayongerako nti, buli lw’omenya amateeka agafuga ebidduka, okwatibwa era n’ovunaanibwa ekiyinza n’okukusibya.

Ng’ovudde ku ekyo, oyinza n’okukola akabenje n’otta abantu naawe okufiiramu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....