TOP

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2019

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Acaya1webuse 703x422

Ocaya ng'alaga mmotoka gye yakola mu kugezesebwa

Bya Stella Naigino

Bwe twogera ku kintu eky’okufaayo ku mwana okumanya ebintu by’ayagala n’omuzadde okumuyamba okukuguka mu kintu ekyo, abantu abamu balowooza tekikola makulu.

Naye ono omuvubuka, Francis Ocaya bazadde be bwe baalaba ng’ayagala eby’okukanika ne bamutwala mu ttendekero eribisomesa era n’akuguka mu byo oluvannyuma lw’okutuula siniya eyookuna.

 caya ngaliko waya zagatta mmotoka ye okwaka Ocaya ng'aliko waya z'agatta mmotoka ye okwaka

 

Entandikwa

Ocaya bwe yali asoma yassaayo omutima era n’ayiga ebyo abasomesa bye bamusomesa.

Agamba nti, “Okuva mu buto nayagalanga okukola emmotoka era bwe nagenda okusoma ebyokukanika ekiruubirirwa kyange kyali kya kuyiga engeri mmotoka bw’ekolebwamu.

Nga naatera okumaliriza okusoma, omusomesa omu yayisa ekiragiro nti nga tebannatutikkira, balina okukolayo ekintu ekitambulira ku mipiira oba ekitundu ky’emmotoka nga wano Ocaya we yatandikira okulowooza ku kukola emmotoka.

Ono yatandika okukung’aanya ebintu ng’amabaati, okusala emipiira, okufuna baatule n’ebirala bye nali neetaaga era nga wadde nali nneetaaga ssente okugula ebintu bino, ze nafunawo ze nakozesa.

 iteeringi caya gye yassa mu mmotoka gye yakola Siteeringi Ocaya gye yassa mu mmotoka gye yakola

 

Oluvannyuma lw’emyezi esatu, nali mmalirizza okukola emmotoka eno era nalondebwa ng’omuyizi eyali asinze abalala.

Mmotoka eno, yankolera era abasomesa bange baagitwara ku Paalamenti ababaka ne bansiima era eno bansuubizaayo omulimu.”

Godfrey Mwesigye, akulira ettendekero lya Lugogo Vocational Institute, Ocaya gye yasomera agamba nti abayizi ng’ono ssinga beeyongera, abantu bajja kukakasa nti omwana ekitone kye bwe kikuzibwa, abeera asobola okubeerawo ng’ekitone kye kimuliisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.