TOP

Manya amateeka g'oku luguudo nga tonnalutuukamu

By Musasi wa Bukedde

Added 16th October 2019

Manya amateeka agafuga oluguudo weewonye okutanga oba okusibwa nga totegedde

Rd5webusebignew 703x422

Ow'ebigere alina kutambula ng'atunudde mmotoka z'ayising'anya nazo gye ziva

Bya Sauyah Namwanje

Tuli mu nnaku ezisemberera okumalako omwaka wabula abantu abamu tebafaayo kumanya mateeka ga kukozesa makubo bulungi.

ASP Faridah Nampiima, ku poliisi ya Old Kampala era asomesa eby’oku nguudo alaga agamu ku mateeka abakozesa enguudo ge balina okugoberera.

  1. Tosala mulundi gumu nga waakava mu kidduka naddala ng’ova mu maaso g’emmotoka mw’ovudde oba ng’ekuli mabega. Abantu ababeera bagivuddemu balina okusooka okuyimirira ne beetegereza olabe nga ku ddyo tewali mmotoka ejja, ne ku kkono n’oddamu n’otunula ku ddyo olwo n’olyoka osala ng’ate todduka.
 kutikka abantu abasoba mu omu ku pikipiki kimenya mateeka Okutikka abantu abasoba mu omu ku pikipiki kimenya mateeka

 

2. Bw’osanga ekidduka nga kijjude tokiyingiramu kubanga obeera osusse ku muwendo ogwalagibwa. Mu mateeka g’ebidduka, buli muntu asangibwa ng’asusseemu y’abeera avunaanibwa. Omuntu akwatibwa mu mbeera eyo asobola okusibwa essaawa 48 (z’ennaku bbiri).

3. Bw’otuula mu kidduka okumpi ne ddereeva n’olaba ng’akola ebiyinza okuvaako akabenje, okugeza okunywa ebitamiiza yogera naye nga tannasimbula. Omusaabaze olina eddembe okuva mu mmotoka n’okoppa ennamba yaayo olwo n’otegeezaako abaserikale b’oku nguudo oludda lwonna emmotoka ey’engeri eyo gy’edda ssinga ddereeva wamugambyeko n’agaana okwekomako.

4. Eriyo abantu abalundira ebisolo ng’ente, embuzi n’endiga ku kkubo era kyabulabe okusiba ekisolo okumpi n’oluguudo wadde okuzitambuza. Ebisolo ng’ente ebitambuzibwa nga bingi nabyo birina amateeka gaabyo okuli okubeera n’abazivuga babiri (ow’omu maaso n’ow’emabega), ziteekwa okubeera n’abayambi babiri ku mabbali awamu n’abayambi babiri abalala balina okubeera mmita 100 okuva ente we ziri nga bano bayambako okulabula ebidduka nti emabega eriyo ente ezireetebwa bakendeeze ku sipiidi gye bayinza okuvugirako. Mu bifo ebimu, osangamu obupande obuliko ente.

Bw’oba onootambuza ebisolo ebisukka mu 50, olina kusooka kufuna lukusa okuva ku poliisi olukukkiriza okuzitambuza ku luguudo.

Kimenya mateeka okuleka ebisolo okutaayaaya mu kibuga.

 kukozesa mmotoka ezitalina lukusa kusaabaza bantu kyabulabe era musango ku nnannyini kidduka ekyo Okukozesa mmotoka ezitalina lukusa kusaabaza bantu kyabulabe era musango ku nnannyini kidduka ekyo

 

  1.  Omuntu atambuza ebigere ku luguudo tolina kutambula nga mmotoka. Emmotoka zivigira ku mukono gwa kkono, olwo omuntu n’osigala ku ludda olwa ddyo okwewala okutomerwa kubanga obeera olaba ekiva mu  maaso. Bw’obeera otambula n’omwana nga muto, kirungi omwana oyo n’akubeera mu mukono ogwa kkono okubeera ebweru w’ekkubo.
  2. Weewale okwambala engoye ezizikira naddala mu budde obw’ekiro ng’oli ku luguudo. Kirungi n’oyambala engoye ezaaka ng’avuga ekidduka kyonna asobola okukulaba.
  3. Weewale okubeera n’emmotoka erina ebizibu oba DMC okuli akataala akatakola, wiipa obutabeera ku mmotoka oba okubeera enjatifu, wiring enfu evaako bbuleeki obutakola, emitto nga si milungi, eng’ombe, akalabirwamu ak’omu mbiriizi, omubiri gw’emmotoka nga tegufiiriddwaako bulungi,ssekabuzooba okuggwaamu, omukka nga tegwenkana mu mipiira, emisipi obutaba mu mmotoka n’ebirala. Bw’osangibwa mu mmotoka eri mu mbeera eno, eweebwa ekipapula oba okutwalibwa mu kkooti oba okusibwa emyezi mukaaga oba emyaka ebiri n’okusoba.

Akubiriza abantu okusooka okuyiga emmotoka okusobola okugikozesa obulungi ng’oli ku luguudo nga beebeereramu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu