TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Engeri gy’olabirira daasi boodi ya mmotoka yo

Engeri gy’olabirira daasi boodi ya mmotoka yo

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd February 2020

Bw'olabirira daasi boodi yo n'esigala nga nnamu ate ng'erabika bulungi

Topakingamumusanawebuse 703x422

Mmotoka ezisimbibwa mu musana zoonooneka mangu daasi boodi

Bya Stella Naigino

Ebiseera ebisinga abavuzi b’ebidduka babeera n’emmotoka ezirabika obubi ku daasi boodi olw’okukaddiwa n’okwatikayatika olw’obutalabirirwa bulungi.

Malijani Kintu alina mmotoka ekika kya Carina wabula yayatika daasi boodi ky’agamba nti kyandiba kyava ku ndabirira.

 aasi boodi ebikkiddwaako ekyoya kigirabisa bulungi nokugikuuma obutayonooneka Daasi boodi ebikkiddwaako ekyoya kigirabisa bulungi n'okugikuuma obutayonooneka

 

By’okola okukuuma daasi boodi yo ng’erabika bulungi

  1. Weewale okusimba mmotoka mu musana: Moses Kayiira, makanika wa mmotola agamba nti, buli lw’osimba mmotoka mu musana, obeera oyonoona daasi boodi yaayo kuba buli lw’ebuguma eyatika.
  2. Funa olugoye lw’obikka ku daasi boodi:

Kikola amakulu omuntu bw’afuna olugoye olulabika obulungi n’alubikka ku daasi boodi y’emmotoka ye. Luno luyamba okukuuma daasi boodi ng’erabika bulungi ate n’eteyatika.

  1. Fuba okulaba ng’olwatika oluzze mu daasi boodi nga terweyongera kugaziwa nga tonnatuusa kugikola.

Kino kikuyamba okutuuka okukola mmotoka yo nga tolina kifo kinene kya kuddaabiriza ekikendeeza ne ssente z’ofulumya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi