TOP

Omuwala akanika yingini za mmotoka yeegulidde erinnya

By Musasi wa Bukedde

Added 18th September 2018

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku kitaawe era ku yunivasite mwe yafuna diguli.

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 703x422

Akello ng'ateeka yingini gy'amaze okukanika mu mmotoka

Bya Stella Naigino

Edda omulimi gwonna ogwakwatagananga n’okukanika gwakolebwanga basajja ng’omukyala agwessaako okugukola bamuyita nakapanka, wabula kati ebintu bikyuse.

Wuuno Winnie Rovina Akello, eyeegomba okukanika okuva ku kitaawe bwatyo n’amubeeranga kumpi bwe yagenda akula ng’amuyamba mu kino na kiri n’ekyavaamu kuyiga.

Agamba nti, “ Bwe namaliriza siniya eyoomukaaga, nasalawo okugenda nkuguke mu by’okukanika bye nasomera mu yunivasite y’e Makerere era nkulinamu diguli.

Nneegatta ku kitange ne tukola ffenna era ng’abampa emirimu bansanga wano.

Obukugu mbusinza ku yingini

Bwe nali nsoma essira nalissa ku yingini y’emmotoka era eno ngitegeera nnyo wadde n’ebirala mbisobola.

Yingini gwe mutima gw’emmotoka era makanika bw’aba tasobola kugikanika abeera tamanyi ky’akola.

 kello ngali ku mulimu Akello ng'ali ku mulimu

 

Yingini buli lw’ecankalana, mmotoka yo tebaako ky’esobola kukola era bw’ogikaka kyangu okuvaako akabenje.

Nakolako mu kkampuni ez’enjawulo, wabula kati nkola nga maneja wa kkampuni ya bbaasi za Homeland.

Ekinjagaza okukanika

Omulimu guno gulimu abakyala batono nga kino kinnyambye okufuna emirimu era ebiseera ebisinga nkola n’abasajja bangi ekinnyamba okukola obulungi n’okukakasa bakama bange nti nsobola okuvuganya n’abasajja.

Bwe nsanga obuzibu bwonna nyambibwa mu bwangu.

Kizibu okukola ensobi kubanga guno mulimu gwa mikono nga bw’omaliriza okukola ekintu osobola okukigezesa okulaba nga kikola ekyo ky’okisuubiramu, bwe kigaana ng’okiddamu.

Okusoomoozebwa

1. Olumu abantu bagaana okuwa abakyala emirimu nga balowooza nti tebasobola kukola, naye kisaana babawenga omukisa okulaga kye bakola olwo basalewo oba babawa oba tebabawa mirimu.

2. Olumu ebyuma bibeera bizito nga sisobola kubisitula nga nnina kulinda bannange bannyambeko, wabula kino kindwiisa okumaliriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazirwanakonabengandazaabwengabakwasaabamagyeempapulazaabwewebuse 220x290

Abadduka mu magye temugenda kusiimibwa...

Abaazirwanako baakusekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwandiisibwa mu ngeri gye bagambye nti ebawadde essuubi okulyaku...

Carbond0023scmyk7034221 220x290

Gav't ereese etteeka eriwera okutunda...

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.

Leka 220x290

Omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya...

ENGERI omuyizi wa Perfect Primary School e Kulambiro gye yafiiridde mu kidiba omuwugirwa ekya Kiwaatule Recreation...

Fbimg15631781511232 220x290

Buubuno obukwakkulizo Bobi Wine...

OBUKWAKKULIZO Bobi Winebw’atadde ku Chameleone bwaddiridde enkiiko ez’enjawulo aba People Power ze baatuuzizza...

Kola 220x290

Obwavu bwamugabisa omwana wange...

KITUUFU obwavu tebukumanyisa akwagala. Omuwala yagabira omusajja alina ssente omwana wange. Nze Ronald Kakooza...