TOP

Ebivaako enjawulo mu ngeri mmotoka gye zinywa amafuta

By Samuel Balagadde

Added 6th December 2018

EKIKA kya mmotoka kye kimu, yingini y’emu wabula amafuta aganywebwa ku lugendo lwe lumu ogenda n’osanga nga gaawukana ekisukkiridde.

Mpaako 703x422

Omudumu omunene nagwo gukosa obungi bw’amafuta mmotoka bw’enywa.

Okuva mu Kampala okugenda e Masaka n'okudda mmotoka emu esobola okunywa amafuta ga ssente 80,000 endala ga 100,000/- oluusi n'okusingawo ate ng’ekika kye kimu.

Enjawukana mu nnywa y’amafuta mu bidduka eva ku bintu eby'enjawulo ebisinga nga byetooloolera ku bulamu bwayo n'envuga ya ddereeva.

Joseph Mutumba makanika wa mmotoka e Katwe mu Kampala agamba nti, yingini ya mmotoka gy’ekoma okubeera enfu oba ng'eruddewo okukolebwa saaviisi nga woyiro tatambula bulungi kino kigivaako okunywa amafuta agasukkiridde kw’ago ge yandinywedde.

Mu mbeera y’emu pulaaga za yingini bwe ziba nga zinafuye nga tezookya bulungi mafuta agaba gagenda mu mmotoka nakyo kivaako mmotoka okupipira oluusi n'okufulumya ekikka emebega kiba kitegeeza nti mmotoka eyo anyway nnyo.

Ate ne ‘ggiyabookisi bw’eba tekyusa ggiya bulungi nga bwe zirina okutambula naddala mu mmotoka eza ‘otomatiki’ kino kiba kitegeeza nti erina okunywa amafuta mangi kuba eremera mu ggiya ez'amaanyi ne we kitandyetaagisizza.

Envuga ya ddereeva omuli abayiga ng'alwawo okukyusa ggiya n'alemera mu ggiya nnene ate ebiseera ebimu n'alinnya omuliro ogwamaanyi wadde tekyetaagisa amafutaa gagenda mangi ddaala.

Ye Gilbert Assi akulira kkampuni y'amafuta eya Shell era nga mukugu mu by'amafuta agamba nti buli mmotoka lw’eteekebwamu amafuta amakyamu kiba kitegeeza nti gagenda kugootaanya ebyuma byayo naddala kumpyuta egatambuza n'ekiddira kwe kugawuuta obuwuusi.

Ayongerako nti, woyiro wa yingini ssaako n'owa ggiyabookisi biteekwa okuba nga bya mutindo okusobozesa mmotoka okutambula nga yeetadde nga ne ggiya zikyuka buli lwe kyetaagisa naddala kw’ezo eza otomatiki.

EBIRALA EBIVAAKO OKUNYWA NNYO

  • Obucaafu bw'ekyangwe ekisengejja empewo eyingira mu yingini nabwo bukosa entambula ya mmotoka n’obungi bw’amafuta g’erina okunywa.
  • Mmotoka okugitikka ekiyitiriddde kino kitegeeza nti yingini ekozesa amaanyi maangi mu lukinnya obusozi oba mu ntambula yaayo yonna wadde terinnya kasozi.
  • Emisinde egiyitiridde nga mulimu n'okulinnya omuliro gwa mmotoka n'amaanyi mu kusimbula nga buli mmotoka bw’esukka emisinde egya kkirommita 60 buli ssaawa kiba kitegeeza nti erina okunywa ku mafuta.
  • Mmotoka okugissaako empewa ya AC kiba kitegeeza nti, yingini yaayo eba eyongeramu ku maanyi g’ekozesa ng'etambula n’amafuta gaba galina okweyongerako.
  • Ezimu ku yingini za mmotoka ziba nnene okusinga kuzinnaazo nga kitegeeza nti ez’amaanyi zirina okunywa ku mafuta agawerako okusinga ku za yingini entono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aid4 220x290

'Bannayuganda munyiikire okugaba...

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okwongera amaanyi mu kugaba omusaayi naddala mu biseera bino ng’abaana b’amasomero...

Besigyenganyumyanedr 220x290

Omulamuzi talabiseeko mu musango...

OMUSANGO oguvunaanibwa omusomesa w’e Makerere, Dr. Stella Nyanzi, gwongezedwaayo okutuusa nga 19, December, 2018,...

Developmentchanneldirectorcharleslambertisarrestbypolicearrestoverarrest 220x290

Omunigeria avunaanibwa ogw'obufere...

OMULAMUZI wa kkooti e Nakawa azzeemu n’alagira Omunigeria, Charles Lambert Nwabuikwu, azzibweeyo mu kkomera e Luzira,...

Bobi 220x290

Bobi Wine akukkulumidde Poliisi...

OMUBAKA Robert Kyagulanyi amanyidwa nga Bobi Wine ayombedde e Kayunga olwa kye yayise effujjo lya poliisi okumuwendulira...

Gololaweb 220x290

Golola awonye akatebe

Edward Gololawonye akatebe, bw'aweereddwa omulimu mu Kitara FC eya Big League