TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ensobi 6 ze tulina okulwanako obutasaanyaawo nnyanja Nalubaale

Ensobi 6 ze tulina okulwanako obutasaanyaawo nnyanja Nalubaale

By Musasi Wa

Added 3rd April 2013

Mu kulwanirira ennyanja Nalubaale obutasaanawo Ahmed Mukiibi akulaga ebintu bye tulina okwerinda buli lunaku

2013 4largeimg203 apr 2013 095001307 703x422

Mu kulwanirira ennyanja Nalubaale obutasaanawo Ahmed Mukiibi akulaga ebintu bye tulina okwerinda buli lunaku

Abakugu bagamba nti akatyabaga akoolekedde ennyanja Nalubaale kava ku ngeri gye yajja
okubaawo emyaka 400,000 emabega.

Obutafaananako ng’ennyanja ezisinga obungi ezifuna amazzi okuva mu migga ezigigabirira
amazzi, Nalubaale amazzi gaayo agasinga tegava mu migga. Agasinga gava mu nkuba.

Okunoonyereza kulaga nti enkuba ekola amazzi ebitundu 85 ku 100 agayingira mu Nalubaale ng’ebitundu ebisigadde 15 ku 100 eby’amazzi agayingira Nalubaale bye biva mu migga emitonotono egigabirira omuli Kagera, Katonga n’emirala.

Mu ngeri gy’eyingizaamu amazzi y’engeri y'emu gy’egafulumyamu ng’omugga gwokka ogufulumya amazzi ga Nalubaale ye Nile ogufulumiza e Jinja nga gufulumya amazzi ebitundu 15 ku 100.

Ebitundu 85 ku 100 eby’amazzi ga Nalubaale gafulumira mu kukalira okuva mu musana.

Embeera eno Nalubaale gy’erimu, abakungu bagamba nti y’egissa mu mbeera enzibu nti enkyukakyuka ez’obudde zonna oba ensobi yonna ekolebwa abantu abagikozesa esobola okugisaanyawo.

Okukakasa nti Nalubaale eri mu katyabaga, abakugu bagamba nti olw’enkyukakyuka ez’obudde amazzi ga Nalubaale gaakakendeerako mita ssatu mu myaka 300 egiyise.

Obulabe obwolekedde nalubaale Obusinga obunene ennyanja Nalubaale bw’erimu buva ku: Kazambi ne kacica ayiibwa mu nnyanja

Kacica ne kazambi asinga ayiibwa mu Nalubaale ava mu makolero agali ku mbalama n’ebifo
ebiriraanye ennyanja gattako n’abantu abakolera emirimu ku nnyanja n’embalama zaayo omuli n’abagirimirako abagiyiwamu ettaka.

Amakolero gonna agali ku Nalubaale mu Uganda, Kenya ne Tanzania gagyeyambisa ng’ekifo
mwe gayiwa kasasiro waago omuli n’ebizzi ebirimu ebiragala, ga woyiro, agazigo, birangi, biggiriisi n’ebicaafu ebirala bye bandibadde bakung’aanyiza awamu ne babisaanyawo mu ngeri endala oba okubirongoosa ne bitabeera byabulabe.

Kacica ono takoma ku kwonoona nnyanja wabula asaanyawo n’ebyennyanja n’ebintu ebirala
ebibeera mu mazzi.

Embeera eno, abakugu basinze kugizuula mu bitundu nga Jinja, Ntebe ne Luzira, Uganda,
e Kisumu, Kisii, ne Homa Bay mu Kenya; Kagattako e Bukoba, Mwanza ne Msoma mu Tanzania.

Ekiddo

Ng’eno abantu be bafuba okusaanyawo Nalubaale, n’ekiddo nakyo kyefunyiridde mu kugittattana.

Ekiddo kigenda kigifunza mpolampola era mu bifo ebimu eby’ennyanja eno mu Uganda, Kenya ne Tanzania, ekiddo kimaamidde ennyanja.

Ekiddo kyokka ekiyingira Nalubaale kiva Rwanda ne kiyingira mu mugga Kagera okumpi n’omwalo gw’e Kasensero muRakai. Wadde Gavumenti ya Uganda, Tanzania, Kenya ne
Misiri zifubye okulwanyisa ekiddo, embeera ekyali mbi kubanga e Rwanda gye kiva abaayo tebalina kye bakozeewo okukirwanyisa.

Waliwo ekiddo lwe kyataama mu 2000 ne kimaamira obunene bwa mayiro 770 erudda n’erudda ku nnyanja zonna ne gikosa nnyo abavubi, entambula ey’oku mazzi n’amasannyalaze agakolebwa ku mabibiro.

Okusaanyawo entobazzi
Nalubaale yeebunguluddwa entobazzi ez’omugaso eri ennyanja. Wabula abantu beefunyiridde okuzisaanyawo awatali abakuba ku mukono.

Kino kiri mu Tanzania, Kenya ne Uganda. akulira NEMA, Dr. Okurut agamba nti gavumenti ez’amawanga gonsatule ziteekwa okukuuma entobazzi bwe ziba zaakutaasa Nalubaale.
Agamba nti entobazzi zino zigabirira emigga amazzi oluvannyuma ne ziyiwa mu Nalubaale
kale tegirina kukwatibwako.

Ezimu ku ntobazzi eziri mu kusaanyizibwawo mulimu Kanyaboli, Sare ne Namboyo mu Kenya Nabugabo, Nabajjuzi, Ikimba ne Burigi mu Tanzania

Okwokya Amanda n’okutema emiti
Omuze ogwongera okukula buli lunaku gwe gw'abantu okusaanyawo ebibira ebiriraanye ennyanja Nalubaale ekivuddeko enkyukakyuka mu mbeera y’obudde naddala enkuba obutatonnya mu biseera ebyali bimanyiddwa.

Abantu basaanyawo ebibira okwokya amanda n’okufunamu enkuba ate abalala babisaanyawo okufuna aw’okulimira emmere.

Omuze guno guli mu Uganda, Kenya ne Tanzania era guttattanye Nalubaale. Abakugu bagamba nti amazzi agasinga obungi ebitundu 85 ku 100 agayingira mu Nnalubaale gava mu nkuba n’olwekyo omuntu yenna asaanyawo ebibira ye mulabe nnamba emu owa Nalubaale era asaana okukolwako ng’omuntu alidde mu nsi ye olukwe.

Envuba embi
Ekirala ekittattanya Nalubaale y’envuba ey’ekifiiriza abavubi b’amawanga; Kenya, Uganda
ne Tanzania gye beenyigiddemu nga kino abakugu bagamba nti singa embeera egenda bwetyo mu maaso, mu myaka 10 okuva kati tekijja kusoboka kukwasa kyennyanja.

Awatali kuvuba mu Nalubaale, omugaso gwayo eri obulamu bw’abantu abagifuna obutereevu bunaaba bukyali wa?

Okuzimba amabibiro
Ng’oggyeeko enkuba okukendeera, ne pulojekiti ez’amabibiro ag’amasannyalaze nazo zikoze
kinene okukendeeza ku bungi bw’amazzi. Kino kirina okutunulwamu okusobola okutaasa
Nalubaale

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.