TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ebintu by'okola ebittattana ennyanja Nalubaale

Ebintu by'okola ebittattana ennyanja Nalubaale

By Musasi Wa

Added 16th April 2013

ENNYANJA Nalubaale ge gamu ku makula ga Uganda. Wabula kyewuunyisa nti amakula gano tugagalabanja ekivuddeko ebyennyanja byamu okukendeera, ebinyonyi n'ebisolo ebibaawo olw'ennyanja okufa n'ennyanja yennyini okukendeera.

2013 4largeimg216 apr 2013 082007607 703x422

Bya  BONITAH  KIBALAMA 

ENNYANJA Nalubaale ge gamu ku makula ga  Uganda. Wabula kyewuunyisa nti amakula gano tugagalabanja ekivuddeko ebyennyanja byamu okukendeera, ebinyonyi n'ebisolo ebibaawo olw'ennyanja okufa n'ennyanja yennyini okukendeera.

Ebimu ku bintu ebittattanye ennyanja mulimu okuziba emyaka n'emigga egiriikiriza Nalubaale. Muno mulimu omwala gw'e Nakivubo, emigga nga Lubigi.

Abantu abayitiridde obungi ku mbalama z'ennyanja eno naddala ku myalo nga Gerenge ne Kasenyi  ku lw'e Ntebe, Katosi e Kyaggwe, Bukakata , Ddimo, Namirembe  bino byonna  mu Masaka, Masese e Jinja, n'emyalo emirala  nabo baleetedde ennyanja  okwonooneka.

Ebirala mulimu okusuula kazambi  n'obukyafu obuva mu makolero mu nnyanja; okutema ebitogo, ebibira n'ebirala ebyetoolodde ennyanja Nalubaale.

Amakampuni mangi gayiwa ebiragalalagala mu nnyanja ekisse ebyennyanja ate bw'ogattako envuba embi ng'abavubi bakozesa obutimba obwa mukokota oba obutwa olwo ne gujabagira.

Ebintu by''okola ebittattana ennyanja Nalubaale

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.

Bada 220x290

Gavumenti etandika Lwamukaaga okugaba...

GAVUMENTI efulumizza pulaani y’okugabira abanaku emmere Pulezidenti Musevi gye yasuubizza oluvannyuma lw’okuyisa...

Mwe 220x290

Abaakava e Dubai babaggye Matugga...

WABADDEWO akasattiro e Matugga abasawo b’ebyobulamu okuva mu Munisipaali y’e Nansana bwe bazinzeeko abantu ababadde...

Abaana 220x290

Engeri Corona gye yakutte aba Watoto...

OMU ku baakulemberamu abaana ba Watoto okugenda e Bungereza ye yasooka okulaga obubonero bwa Corona. Gwe baasoose...