TOP
  • Home
  • Emboozi
  • MAWANDA: Kabaka eyasooka okulwana agatte Busoga ku Buganda

MAWANDA: Kabaka eyasooka okulwana agatte Busoga ku Buganda

By Musasi Wa

Added 16th May 2013

MAWANDA yali mukambwe ate nga mumalirivu era nga muzira. Ye Kabaka eyasooka okutabaala Busoga ng’ayagala okugigatta ku Buganda.

2013 5largeimg216 may 2013 171352677 703x422

 

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II muzzukulu wa Ssekabaka Mawanda, Kabaka wa Buganda owa 22 eyajja n’omulamwa ogw’okugaziya Buganda n’okulwanyisa obwavu. Ng’ebula ennaku 75 okutuuka ku matikkira ga Ssaabasajja aga 20, omusasi waffe MADIINA SSEBYALA alaze ebyafaayo bya Ssekabaka ono n’ebirungi bye yakolera Obuganda.

MAWANDA yali mukambwe ate nga mumalirivu era nga muzira. Ye Kabaka eyasooka okutabaala Busoga ng’ayagala okugigatta ku Buganda.

Olutalo lwa Buganda ne Busoga lwali kakuuse era lwa maanyi ddala anti n’okutuusa leero olutalo luno oluyitibwa olw’e Nsiisi lukyayogerwako mu Buganda ne mu Busoga.

J.S Kasirye mu katabo ke “Abateregga ku Nnamulondo ya Buganda” agamba nti Abaganda baaluyimbamu oluyimba nti ‘Olw’e Nsiisi lwatta wamma abantu’ sso ng’Abasoga ne kaakati bakyevuma Mawanda era bamwogerako nti ‘Omugandha Mawanda olumbe lw’ekirago olwatta maama n’erata!’

Wabula ebigendererwa bye teyabimaliriza abaana ba muganda we Musanje okwali Mwanga, Namugala ne Kyabaggu baamulwanyisa ne bamutta ne bamuleka mu nnyumba olwo bonsatule ne balyoka balya

Obwakabaka mu mpalo. Muteesa 1 ye yakung’aanya amagumba ga Mawanda n’agatwala e Meereera n’agagatta ku luwanga lwe e Sserinnya eri Amasiro ge kati.

Mawanda okumanya yali mulwanyi nnamige, ye yagaziya Essaza lya Bulemeezi oluvannyuma lw’okulwanagana n’Abanyoro n’agenda ng’abawambako ebitundu. Oluvannyuma yakyusakyusa mu Bwakkangaawo n’abuzimbira ku musingi omugumu ng’abuwa basajja be abazira era abalwanyi nnamige bokka.

OW’ESSAZA KANGAAWO
Ow’essaza lya Bulemeezi, Kangaawo Gideon Kisitu agamba nti ddala Ssekabaka Mawanda yali muzira nnyo era kino Ab’e Bulemeezi baakimukoppako.

Agamba nti Essaza lino lye lyasooka okulima Pamba abantu ne bagaggawala n’oluvannyuma abalala ne babakoppa. “Singa si ntalo ezaayonoona ebyobugagga n’okutta abantu twandibadde tuli wala nnyo’, Kangaawo bwe yategeezezza.

Ayongerako nti Abalemeezi bazira ne mu mizannyo oluvannyuma lwa Bulemezi okukuba Buweekula 2-1 ne batwala ekikopo.

Kyokka n’omwaka guno Kangaawo yaweze okweddiza ekikopo wabula n’akunga Abalemeezi bajjumbire ennima y’omulembe mu buli maka.

Kkangaawo okukkaatiriza obuzira bwe baakoppa ku Ssekabaka Mawanda yagambye nti Bulemeezi alina abasajja enkwata ngabo nga Ssekabaka Mawanda be yayagala omuli Minisita w’amatendekero aga waggulu ate era omubaka wa Palamenti owa Bamunanika Dr. JC Muyingo, Ssentebe wa Luweero Hajji Abdu Nadduli ,Peter Ssematimba owa Super FM, Minisita w’ebyenguudo Abraham Byandaala , Dr. Kisamba Mugerwa, Minisita Rose Namayanja n’abalala bangi.

 


Amasiro ga Ssekabaka Mawanda e Serinnya.

Ssekabaka Mawanda era ye yagunjaawo ekitongole kya Bannamusu okulabirira emmanju wa Kabaka wadde nga kino Kabaka Muwenda Mutebi II yakidibya .

Akatabo kagenda mu maaso ne kalaga nti endwadde ya Kabootongo ekyajojobya Abaganda n’okutuusa leero yabalukawo mu biseera by’entalo za Mawanda nga mu munyago gw’abakazi be baawambanga mwe mwajjira n’abaalina kabootongo abaamuyingiza mu Buganda.

Abaganda n’okutuusa leero batya nnyo obulwadde buno era kigambibwa nti kumpi buli Muganda amulina nti ali mu musaayi azze atambula okuva ku Ssekabaka Mawanda.

Mu ntabaaloze Abaganda mwe baafunira endwadde ya Kabootongo

DR. Henry Kakande akolera mu kitongole kya Management Health Services mu Kampala agamba nti, kabootongo bwe yajja, yalwangawo okulaga obubonero, kale obulwadde nga bukonera munda ng’omuntu tamanyi.

Yagendanga okukimanya nga kizibu okumujjanjaba era ng’atta abantu, kino kyatiisa nnyo abantu ate na kati kikyaliwo.

Ekirala ekikyatiisa abantu kabootongo ne gye buli eno, singa omukyala aba olubuto ate asobola okuyitamu n’akwata n’omwana, k’abe ng’amufunidde ku lubuto oba nga yamufuna talulina. Kale kino kibufuula obulwadde obw’obulabe kuba wandisuubidde nti akoma ku mukulu yekka takosa mwana ali mu lubuto.

Era bwe bumu ku bulwadde obusobola okuggyamu omukyala olubuto nga terunnatuuka, ate bangi bamutya olw’empiso emujjanjaba okuba ng’eruma nnyo ate nga waliwo abantu bangi abatya okubakuba empiso.

Kabootongo asinga kukwata ng’ayita mu kwegatta, wabula taliimu bika ng’abamu bwe balowooza. Naye olw’okuba nti buli muntu amuluma bubwe, olumu ayinza okukulumya amagumba, okukusiiya olususu n’engeri endala olwo abantu ne balowooza nti kabootongo w’amagumba oba olususu naye nga si bwe kiba ye aba mu musaayi. Era si kituufu nti buli omu alina kabootongo.

Kabootongo osobola okumufuna okuva ku bazadde bo, ate nga nabo baamufuna okuva ku bazadde baabwe osanga oli awo naye nga tebaamujjanjaba, wabula tekitegeeza nti omuntu alina kabootongo buli mwana gw’azaala naye alina okuba naye, newankubadde ng’emikisa gy’okumukwata gibaawo. Ekirala kabootongo asobola okukusuula eddalu

Bamujjanjaba n’empiso ya penicillin wabula eno eruma nnyo, kirungi okumujjanjaba nga bukyali okusinga okumulinda n’ava mu katulututtu, n’adda mu bitulututtu olwo ekiba kisigadde kukusuula ddalu!
Nga bwe yabitegeezezza Edward Serinnya.

 

AMASIRO ga Mawanda gasangibwa ku kyalo Serinnya mu Ggombolola y’e Mmende mu Wakiso.
Okutuuka e Sserinnya okwata lw’e Hoima, n’oviiramu ku mayiro 14, kyokka okutuuka ku Masiro ziri mayiro bbiri okuva ku luguudo.

Abatuuze bagamba nti, baagala Kabaka asiime asseewo amateeka abatunda ettaka ly’Amasiro.
Nnaalinnya waago ye Hadijja Nawatti Mpologoma ng’ono yasangiddwa Kawempe Ttula mu maka ge nga puleesa yamukuba n’emusannyalaza n’ategeeza nti ebintu ebisinga omuli engabo, amafumu n’ebintu Ssekabaka Mawanda bye yakozesanga mu bulamu bwe obwabulijjo omuli entebe, engatto bali babikuumira mu Masiro gano, nga bisikiriza n’abalambuzi naye abantu abatannategeerekeka baabibba .

Nnaalinnya ayongerako nti e Serrinnya agendayo buli luvannyuma lwa mwezi nga buli lw’agenda afumba ekijjulo n’agabula ab’oku kyalo n’okusulako mu Masiro ky’agamba nti akikola kulaga Ssekabaka nti tebamwerabiranga era bakyali wamu naye.

Agamba nti lw’agendayo lw’akuma ekyoto kyokka agamba nti Gavumenti y’e Mmengo esaana esseewo omutemwa gwa ssente ziyambeko Bannaalinnya b’Amasiro kuba babeera n’abayambi bangi kyokka nga tebalina ssente zibasasula.

Sir. Apollo Kaggwa alaga nti olubiri lwa Mawanda yalukuba Kitakala mu Busiro n’azimba ennyumba gye yatuuma Kiryokyembi nga Jajja we ye Tebandeke. Omulongo we ye Ssimbwa

Abaami be abatiitiizi yabagoba n’abasikiza abalwanyi nnamige
SSEKABAKA Mawanda okulinnya ku Nnamulondo yajja n’omulamwa gwa kugaziya Buganda n’okulwanyisa obwavu ng’anyaga ente n’ebyobugagga ntoko okuva mu Busoga oluvannyuma lw’okubatabaala n’abakuba n’abaleka nga bamwasimula.

Kyokka yagenda okuva mu lutalo luno ng’anyiigidde abaami be abaamasaza abatiitiizi kye yava asalawo okubagoba n’abasikiza abalwanyi be nnamige, abaatendekebwa okulwana.

Okusinziira ku Sir Apollo Kaggwa, abaami bano abatiitiizi kwaliko Kangaawo afuga Bulemeezi ng’ono yali ayitibwa Naabugwamu, Kaggo owa Kyaddondo ne Ssekiboobo owa Kyaggwe.

Kyokka ng’omulungi bw’atabulako kamogo, Mawanda wadde yagaziya nnyo Buganda ng’alwana entalo n’Abasoga era n’Abanyoro bwatyo n’agaziya Buganda ku luuyi lw’e Bulemeezi naye era entalo zino zaayingiza Kabootongo mu Buganda, endwadde ekyajojobya abantu n’okutuusa leero.

Ssekabaka Mawanda ye Kabaka owa 21. Kitaawe ye Ssekabaka Ndawula ne nnyina ye Luyiga muwala wa Sseggirinya ow’Engo .

Yafuga wakati wa 1738 ne 1740 ng’ayambibwako Katikkiro we Ssebanaakitta ow’Emmamba .

Omutaka Wilson Sentoogo omuwandiisi w’olukiiko lw’abataka agamba nti Mawanda baamuzaala mu ngeri ya kyewuunyo olwa kitaawe Ndawula okulagira eyali Ssekiboobo mu biseera ebyo Nkalubo atte nnyina wa Mawanda n’olubuto lwe yalina ng’amuvunaana kuwanda malusu mu mmere bwe baali mu lubiri nga balya.

Omanyi Omuganda tayagala muntu awanda malusu wali bantu ate bw’ogawanda awali abalya oba obizadde si kaakuba lubuto! (Empisa ey’obutawanda malusu mu bantu ne leero ekyali nkulu mu Buganda).

Ekiragiro ky’okutta omukazi ow’olubuto kyatiisa Nkalubo bwatyo n’afunayo omukyala omulala ow’olubuto gwe yatta n’olubuto lwe olwo ye Luyiga n’amukukusa n’amukweka ewuwe.

Luyiga bwe yazaala omulangira Nkalubo n’amutwalira kitaawe Ndawula era ono yamukubako eriiso limu ng’amufaanana nnyo n’ajjukira ebyaliwo nnyina bwe yamuwandulira amalusu bwatyo mu bwangu n’amutuuma Mawanda kuba nnyina yawanda amalusu mu mmere.

EKIKOLWA KYA NKALUBO Eky’obutatuukiriza kiragiro ekyaweebwa mu busungu kyayongera okunyweza Aboomusu n’okubafunira obuganzi embuga Akatabo ky’olulyo lw’abalangira abava mu Kibi Kaganda akaawandikibwa JM Kazaawula ne R.S. Luyombya kalaga nti Mawanda yawasa abakyala musanvu okuli Kikome eyazaala omulangira Bengo ,Nabunnya Nassaza eyazaala omulangira Malere ,Nabuuso teyazaala ,Nakasinde yazaala Abalongo Kato ne Wasswa.

Abalala kuliko Namisango teyazaala , Nangozi yazaala omulangira Kirebe ne Nankomyo eyazaala omumbejja Namirembe.

Kyokka Sir Apollo Kaggwa mu Mpisa Z’Abaganda ayongerako nti Mawanda yalina abasebeyi 203 n’abazaana 390, bw’obagatta ku bakyala bali omusanvu be bakazi 600.

MAWANDA: Kabaka eyasooka okulwana agatte Busoga ku Buganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...