TOP
  • Home
  • Emboozi
  • MUTEESA II: Kabaka eyalemesa Abazungu okugatta amawanga ga East Afrika

MUTEESA II: Kabaka eyalemesa Abazungu okugatta amawanga ga East Afrika

By Musasi Wa

Added 28th May 2013

MAJ. Gen. Sir Edward Frederick David Luwangula Mutebi Walugembe Muteesa II ye Kabaka wa Buganda owa 35. Yasikira Ssekabaka Daudi Chwa II nga November 26, 1939.

2013 5largeimg228 may 2013 171708923 703x422


 

 

 

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II Mulangira wa Ssekabaka Sir Edward Muteesa II. Ng’ebula ennaku 63 okutuuka ku matikkira ga Ssaabasajja ag’omulundi ogwa 20 aganaabaawo nga July 31, 2013, DICKSON KULUMBA alaze ebirungi Ssekabaka Sir Edward Muteesa II bye yaleka ebitalyerabirwa.

MAJ. Gen. Sir Edward Frederick David Luwangula Mutebi Walugembe Muteesa II ye Kabaka wa Buganda owa 35.  Yasikira Ssekabaka Daudi Chwa II nga November 26, 1939.

Yazaalibwa nga November 19,1924 ate n’akisa omukono nga November 21,1969. Yazaalibwa Makindye mu nnyumba ya Sir Albert Cook. Yabatizibwa Bp. Williams nga December 23, 1924 ku Lutikko e Namirembe.

Muteesa II okulya Obuganda kwe kwali okusiima kw'eddaame lya kitaawe Ssekabaka Daudi Chwa II era Olukiiko lwa Buganda n'abakungu abaali ku lusegere lwa Kabaka Daudi Chwa II gwe baasemba.

Ssekabaka Muteesa II (owookubiri ku ddyo) yali musikawutu.

Yakolwako emikolo egimukakasa nga Kabaka mu nnono y'Abaganda ku Wankaaki w'Olubiri nga November 26, 1939, naye olw'emisomo n'emyaka emimpi gye yalina, baamuteekerawo abakuza okutuusa lwe yaweza emyaka 18, era n'akolwako emikolo gyonna mu bujjuvu.

Olwa November 19, 1942 lwe lunaku lwennyini lwe yakwasibwa obuyinza mu bujjuvu okulamula Obuganda.

Ekiro ekyakeesa olunaku luno, Mujaguzo yasula evuga, "Bulwa, Bulwa, Bulwa, Bulwa, Bulwa, Bulwa............".

Baasookera mu kusaba ku Lutikko e Namirembe ne badda mu Lubiri e Mmengo. Kabaka yakuba ekirayiro (kyali kya kubeera muwulize eri Kabaka w’e Bungereza George V!).

Omukolo gwonna gwali mu mikono gya Katikkiro Samuel Wamala. Omulangira omukulu Kiweewa G.W Mawanda yali ku lusegere lwa muto we mu buli kimu ekyali kigenda mu maaso.

Nga November 20,1942, emikolo gy'obuwangwa ku kasozi Naggalabi- Buddo lwe gyakolebwa. Mu kino teyasomoka mugga Mayanja okutuuka e Buddo.  Lubuga we yali mukulu we Nnaalinya Margaret Lwantale.

Ssekabaka Muteesa II yalabikako eri Olukiiko lwa Buganda nga November 21, 1942. Okusinziira ku kitabo Ebyafaayo n'ebifa mu Bwakabaka bwa Buganda ekya Polof. Gordon Wavamunno; omukolo guno gwakulemberwa olutalo lw’ebirumbirumbi ogwakulirwa Omutaka Ssemanobe.

Ku olwo, Katikkiro ng’ali wamu n’omulamuzi, omuwanika, omutaka Mugema ne Kasujju Lubinga baalangirira eri nnamungi w’omuntu nti, “Tubanjulira Kabaka Edward Muteesa II y’ono ataliiko kubuusabuusa”.

Bwe baamala okulangirira batyo Obuganda bwonna ne buyimirira era nga bajjudde essanyu ne boogera waggulu nti “Katonda kuuma Kabaka Muteesa II.”

OKUSOMA KWA MUTEESA II
Ssekabaka Muteesa II yasomera King's College Budo, eno yavaayo ku komerero ya 1942.
  Yeegatta ku Makerere yunivasite okuva mu 1943 okutuusa mu September wa 1945.

Yasomerako mu Magdalene College ne Cambridge University e Bungereza okuva mu 1945.

Yali ayagala nnyo eby'ekijaasi era olwamala okusoma n’atendekebwa mu Offi cers' Training Corps era n'ayingira mu kutendekebwa mu ggye erikuuma Kkwiini wa Bungereza erya Grenadier Guards.

Muteesa II ye Muddugavu eyasooka okukkirizibwa mu ggye lino. Yakuzibwa okuba Captain, era nga kyamwambazibwa Kabaka George VI mu Lubiri e Buckingham nga June 26,1947, era n’akuzibwa okutuuka ku ddaala lya Lieutinant Colonel nga December 20, 1963.

Ssekabaka Muteesa II ng’ali mu buwang’anguse.

Amagye ga Uganda nago gaamukuza okutuuka ku ddaala lya Maj. Gen. nga October 9, 1963 ,olunaku lwe yalayizibwa ku bwapulezidenti bwa Uganda. Yaweebwa ekitiibwa kya KBE nga January 1,1962.

Era yaweebwa ekitiibwa okuva ewa Kkwiini wa Bungereza ekya Sovereign of the
order of the shield and spears ( SOSS).

Yaweebwa n’omudaali okuva e Buyonaani ogwa, GC of the Orders of the Phoenix of Greece, and the Queen of Sheba of Ethiopia nga June 17, 1964.

Omwogezi omu yagamba nti singa owulira Ssekabaka Muteesa II ng’ayogera Olungereza eyo mu kisenge nga tomulabyeko ng’oyinza okulowooza nti Mungereza y’ayogera!

Ebyamusoomooza
Ekya Namasole Drucilla Namaganda okuddamu okufumbirwa kyaleetawo okusoomooza kunene. Wadde Kabaka y’adibya obulombolombo mu Buganda, era ne ku luno Kabaka Muteesa II yasemba nnyina addemu afumbirwe, kyokka Abaganda kyabanyiiza nnyo.

Bino byaliwo mu 1941, era wano we waava okugoba Omutaka Kibaale Erisa Ssonko olw'okuvuma Olukiiko, ne balonda Amos Ssenkaali okuba Kibaale nga wayise emyaka ebiri miramba.

Era wano we waava okutabangula obukulu bw'Ekika ky'Empeewo. Nga January 15, 1945; Abakozi ba Public Works Department ( Piida) beekalakaasa lwa mpeera ntono nga bagigeraageranya n’eya bannaabwe Abeeru.

Baali bakulemberwa Ignatius Kangavve Musaazi, Bulasio Kayongo, Yaake Kyazze n'abalala.

Muteesa II yawalirizibwa okugoba ku buwanika, musajja we Sserwano W. Kulubya gwe yali ayagala ennyo, obuwanika ne buweebwa Yosia Kyazze.

Ssekabaka Muteesa, Nnaabagereka Damalie(wakati), Ssekiboobo Ham Mukasa (emabega wakati) n’abakungu ba Kabaka abalala.

Embaga ya Muteesa
Ssekabaka Muteesa II yawasa Catherine Damalie Nakawombe Kisosonkole nga November 19, 1948 wakati mu kuwakanyizibwa Abataka abaali bagamba nti Kabaka talina kuwasa mukazi wa Nkima.

Mu kitabo kye The Desecration of my Kingdom, Muteesa II agamba nti osanga obufumbo bwabwe tebwali bwa kubeera na mukisa kuba okusooka yali ayagala Sarah Kisosonkole, muto wa Damalie (era maama wa Kabaka Mutebi), kyokka bwe baafuna obutakkaanya kwe kuwasa mukulu we mu ngeri y’okwesasuza.

Wabula embaga yo yali nnyuvu. Ekiteeteeyi ky’omugole baakigula Bungereza ku pawundi 110.  Mu biseera ebyo nga zino ssente nnyingi nnyo, oyinza okuzigeraageranya ku bukadde nga 12 obwa kaakati!

Sarah muganda w’omugole Damalie ye yali metulooni, kyokka bwe baamukuba ekifaananyi ky’omukolo, Sarah yatunula wansi.

Akasiki kokka, Kabaka yayita abagenyi 700, kyokka nga bw’omanyi embaga y’Omutanda bw’ebeera, abantu beeyiwa ku kasiki.

Keeki yali ya madaala ana, naye mu kiseera ekyo nga tekirabwangako. Muteesa yagisala na kitala kye eky’ekijaasi.

Okuwang’angusa Muteesa
Waaliwo akeediimo olwa April 24, 1949 ng’abantu bangi okuva mu buli ssaza beeyiwa ku nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba nga bagaala wabeewo ekyukakyuka mu ntambuza y’emirimu gy’Obwakabaka.

Mu zimu ku nsonga ze baawa, mwalimu eky’abantu okwerondera abakulembeze abanaabafuganga.

Abaali emabega w’akeediimo kano kwaliko James Miti Kabazzi ( eyali akulira ekibiina kya Bataka Bbu), Nasanayiri Mayanja Mukwenda, Rev. Fr. Spartas Ssebbanja ( Orthodox Church), Yaake Kyazze, Paul Mukasa n’abalala.

Ssekabaka Muteesa II, yawang’angusibwa nga November 30, 1953 e Bungereza ng’alangibwa kukaluubiriza Gavana Sir Andrew Cohen ku nsonga y’okugatta amawanga ga East Afrika okuli Uganda, Kenya ne Tanzania, Abazungu ge baali baagala okufuula ensi emu.

Mu buvumu obw’ekitalo, munnamateeka Apollo Kironde yaleka byonna bye yalina okukola era nga July 27, 1954, n’awaaba omusango ogwakola ebyafaayo.

Apollo Kironde yawaaba nti ekikolwa kya Gavana eky’okutabala Muteesa II ng’omukulembeze wa Buganda ow’ennono kyali kimenya mateeka era kyasukka obuyinza bwa Gavana, n’olwekyo kiteekwa kusazibwamu.

Abawaabi, Semu Mukwaba, Juma Tomusange ne Rapheal Kasule, bonsatule nga babaka be yeerondera ye yennyinni, baawawaabira bannaabwe, Daudi Mukubira, Matiya Kafeero Wamala, Andereya Nyanzi ne Yaake Kyazze olw’okutuula mu Lukiiko nga tebannakakasibwa Kabaka.

Omusango mu kibuga Kampala gwatandika okuwulirizibwa olwa September 27, 1954. Abajulizi mu musango guno ku ludda lwa Kironde, kwaliko; Matayo Mugwanya, Omulamuzi wa Buganda, Micheal Kintu, ow’essaza Mukwenda, Bulasio Kavuma- Ssebwana, Andereya Kyamwa- Kayima, Ham Kamya- Omukulu w’ekibuga, Benedict Kibirige- yali mukulu wa poliisi ya Kabaka ne Tomasi Lwabidongo ng’ono yali wa ggombolola.

Ate ku ludda lwa Gavana kwaliko; C.H. Thornley, Chief Secretary wa Uganda, J.P. Birch, Micheal Kawalya Kaggwa ne Joshua Kaate Kamulegeya, eyali Mugema wa Buganda.

Ensala y’omusango guno yaliwo nga November 4, 1954 era yali bweti; Kabaka Muteesa II yamenya endagaano ya 1900 bwe yagaana amagezi gavumenti enkuumi geyali emuwa mu byobufuzi bwa Buganda.

Wabula mu kuggyako Kabaka, Gavana yakozesa ekitundu ekikyamu kubanga ekyo kyali tekimuwa buyinza kuggya Kabaka ku Bwakabaka bwe”.

Ensi kata egwe eddalu, abantu omwenge baagunywa kata bagumale mu birabo kuba eno ye yali entandikwa y’olugendo lwa Kabaka okudda mu nsi ye mu 1955.

MUTEESA II: Kabaka eyalemesa Abazungu okugatta amawanga ga East Afrika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...