TOP

Abavubi kati balwana na nnyanja!

By Musasi Wa

Added 29th May 2013

Nalubaale eyimirizzaawo bangi. Kuliko abavuba ebyennyanja era by’ebimu ku bisinga okuyingiza ssente mu ggwanga kuba bitundibwa mu mawanga ag’ebweru.

2013 5largeimg229 may 2013 120303770 703x422

 

 

 

 Bya HENRY NSUBUGA

ENNYANJA Nalubaale eggwanga kwe liyimiridde wabula singa tetaasibwa tutuuse okusanga obuzibu.

Nalubaale eyimirizzaawo bangi. Kuliko abavuba ebyennyanja era by’ebimu ku bisinga okuyingiza ssente mu ggwanga kuba bitundibwa mu mawanga ag’ebweru. Singa tewabaawo kikolebwa ssente ezo tutuuse okuzifiirwa.

EBIVAAKO ENNYANJA OKUBOOGA
Obuzibu Nalubaale bw’erina bwe bw’okuba nti ebibira bisaanyiziddwaawo ebisinga nga babitemamu embaawo, amanda, okusenga ku ttaka, okufuna we balimira n’ebirala ettaka ne
lirekebwa nga kkalu.

Enkuba bw’etonnya olwokuba tewali kikwata ttaka likuluggukira mu migga ate nagyo ne giyiwa mu nnyanja Nalubaale.

Kino kivuddeko ennyanja okujjula ettaka amazzi ne gatandika okubimba.

Ennaku zino abamu ku bakolera ku mbalama nga ku mwalo gw’e Kiyindi mu disitulikiti y’e Buikwe beeraliikirivu. Bagamba ennyanja ebalumbye sso nga be bavuddeko ekizibu.

Amazzi ganjadde abamu obuyumba mwe bakolera tebakyasobola kubuyingiramu.

Abamu bawaliriziddwa okusenguka ku lubalama lwayo awatali kwesiimira. Embeera eno yaggyawo kati ebbanga lya mwezi nga gumu emabega amazzi mu nnyanja bwe gaagenda gabooga mpola ne gagenda nga galya ebifo ebigiriraanye kumpi ebbanga lya mmita bbiri.

Ennyanja okugenda ng’ebooga mpola nga bw’erya tekyaleka bantu baali bakolera ko mirimu mu mirembe.

Abasuubuzi abaalina obuyumba ku lubalama kwennyini ennyanja yabumira ne bubuliramu. Abasuubuzi b’oku mwalo gw’e Kiyindi bagamba nti ennyanja ebalemesezza obulamu nga tebakyalina na kye balya.

Sayidi Mutagaya akolera ku mwalo e Kiyindi agamba nti amazzi gabataataaganyizza ne kiba ng’obulamu bwe balimu mu kiseera kino bubi nnyo nga n’amaato tebalina we bagagobya olw’amayinja amangi agali mu bitundu awaali obuyumba amazzi bwe gaayingirira ne babumenyawo.

Madiina Nakintu akolera ku mwalo e Kiyindi agamba nti ennyanja yatandika okujjula okuva enkuba lwe yatandika okutonnya era ng’egenze ebagoba.

EMBEERA KU MWALO
Obuyumba obumu amazzi bw’akeera ku makya nga buli mu mazzi. Mu kiseera kino eky’okukola kitubuze nga tetulina na nsimbi za kuzza baana ku masomero.

Edward Kayondo omusuubuzi w’e Kiyindi agamba nti omwaka guno amazzi gabatawaanyiza
nnyo. Gakosezza ebyenfuna.

Abavubi ku mwalo gw’e Kiyindi bagamba nti, amazzi mu nnyanja gabadde galudde nga tegabimba nga bwe guli kati ng’abasuubuzi baali bazimbye obuyumba nga baliko ekitundu kye baleseeyo kyokka ekyo ennyanja kye yasooka okuziba oluvannyuma n’etwaliramu n’ekibangirizi omwali obuyumba bw’abasuubuzi.

Abasuubuzi nno bali mu nnaku olw’okuba ebbanga lye bamaze mu mbeera eno teri wadde omukulembeze eyali avuddeyo kubasalira ku magezi.

ABAVUBI KYE BAKOZE OKUTAASA EMBEERA
Embeera eno bagamba nti evudde ku myala egiva mu nsozi egikuluggusa ettaka ne giriyiwa butereevu mu nnyanja n’amazzi nga n’embeera eno nayo yandiba nga yakoze kinene ku mbeera omwalo guno gye gulimu.

Mu mbeera eno, abasuubuzi baliko bye bakola okutaasa embeera. Mu bino mulimu abaleese loole z’amayinja ne bayiwa ku lubalama, abalala baleese malamu oba ettaka ate nga bino nabyo byongera kukosa nnyanja.

Abalala kye bakola kwe kufuna ebitiiyo ne bayiwa omusenyu okumpi n’obuyumba bwabwe baziyize amazzi okubuzingiza.

Abakulembeze okwabadde ssentebe wa LC III mu Ggombolola y’e Najja etwala ekitundu kino, Muhammad Ssekyembe agamba nti bagenda kukwatagana n’abasuubuzi balabe biki
bye bayinza okukola.

Abasuubuzi abasoba mu 500 be bakolera ku mwalo gw’e Kiyindi ssaako abantu abawerera ddala abayita ku mwalo guno nga beeyongerayo mu bizinga okuli eky’e Buvuma, Ddolwe, Migingo n’ewalala.

N’abakola ogwa kanyama nga basitula abantu ku mwalo, okubateeka mu binaala nabo bagamba nti kati amayinja agali mu bifo ewaali obuyumba bw’abasuubuzi gabasala ebigere.

 

 

Abavubi kati balwana na nnyanja!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Leero mu mumboozi y'omukenkufu...

Leero mu mumboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'empirinvuma okulwanyisa obulumi ng'oli...

Kuba1 220x290

Abalamuzi mu nsi za Afrika 5 basisinkanye...

HENRY Peter Adonyo akulira ettendekero ly’abalamuzi akubirizza abalamuzi ba Kkooti Enkulu okwenyigiranga mu misomo...

Haki 220x290

Kamoga atongozza hakki eyookuna...

HAJJI Muhammadi Kamoga naye nno tasaaga. Ayingizzaawo hakki eyookuna Zanei Birungi.

Tuula 220x290

Spider Roxy atandise okukokoolima?...

ABANTU abaalabye omuyimbi Spider Roxy n’ekyana nga beekuba obuwuna n’obwama baasigadde beebuuza oba naye yatandise...

Tuma 220x290

Omuwala yankyawa lwa bwavu

NZE Wilson Musoga, nzaalibwa mu disitulikiti y’e Mayuge. Mu 2018, nnasalawo okufuna omwagalwa era amaaso gansuula...