TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebifo ebyanaamiriza Bukedde by'egenda okukulambuza e Dubai

Ebifo ebyanaamiriza Bukedde by'egenda okukulambuza e Dubai

By Musasi wa Bukedde

Added 19th August 2017

Ebifo ebyanaamiriza Bukedde by'egenda okukulambuza e Dubai

Buk1 703x422

Evelyn Nsubuga ow’e Katale Busawula ng’asuula akakonge ke mu bookisi omw’okulondebwa abawanguzi.

NAMUKISA anaawangula akalulu ka Bukedde akamutwala mu Abu Dhabi, ddala ajja kuba alidde nga mulimi. Abu Dhabi gye tutwala abasomi baffe kibuga ekitegekeddwa obulungi, ekijjudde amakolero aga buli kika ate nga gali ku mazzi.

Ekibuga kino ekyasooka okubeeramu abalunzi mu 1760, kyakyuka oluvannyuma lw’okuvumbulwayo amafuta. Emisolo egikuhhaanyizibwa okuva mu mafuta, kye kimu ku kifudde Abu Dhabi okubeera ekibuga eky’omulembe ekyogerwako ensangi zino.

Ekibuga kijjudde ebifo by’obulambuzi nkumu kw’okomya amaaso.

Mangrove Kayaking Tours Ekifo kino kijjumbirwa abalambuzi nkumu olw’okuba kiriko ekibira ekiri ku mazzi, okuteereddwa amaato ag’omulembe agatambuza abalambuzi.

 

Ebika by’ebinyonyi eby’enjawulo bibuukira ku nnyanja n’emiti egyetoolodde ekifo kyonna, era bw’otuukawo olabira ddala ng’olinga azaaliddwa obuto. Olw’okuba ekifo kino kibeeramu nnyo omusana, abantu bakubirizibwa okwambala enkoofiira ne gaalubindi. Bw’obeera mu kifo kino tolema kukkiriza nti ddala abantu bategeka ebyabwe.

Ferrari World Ggwe anyumirwa omuzannyo gw’obumotoka bw’empaka obumanyiddwa nga Formula One, walidde dda anti gye bakututte we wamu ku bifo ebyategekebwa obulungi ku muzannyo guno.

Abantu abalina ku ssente eno batera okugendayo ne beefunira ku ssanyu nga waliwo emizannyo egy’enjawulo. Abaana abato baba n’omukisa okufuna obukodyo bw’okuvuga obumotoka. Eno era gy’ojja okukakasiza nti ddala abantu bamanyi okukuuma ebyabwe, kuba emmotoka ezaakozesebwa okuviira ddala mu 1947 bakyazirina era bazitambuza.

Abu Dhabi Falcon Hospital Abantu mu Uganda gye batafiira ku binyonyi n’ebisolo, Abawalabu baabikyusa anti baabizimbira eddwaaliro ddamba bisobole okulabirirwa obulungi.

Bw’otuuka mu kifo kino olinaanira ddala ebisolo n’ebinyonyi era osobola okubikwatako. Waliwo n’ekifo ekirimu ebyafaayo byonna ebikwata ku by’obulamu bw’ebisolo n’ebinyonyi n’engeri gye bizze bikyukamu. Omugenyi bakuwa n’omukisa oguliisa ku binyonyi bino eby’ebika ebingi bw’oba oyagadde okufaananako nga maama bw’alabirira bbebi we.

Emirates Park Zoo Mu kibuga era baateekamu ekkuumiro ly’ebisolo ery’omulembe omuli buli kisolo kye wali owuliddeko ku nsi. Ebisolo nga empologoma, enjovu, byonna byakuhhaanyizibwa mu bungi era biyisihhanya nga bumyu. Waliwo ekifo awakuumirwa ensolo zino nga zikyali nto era wano omulambuzi aso-bola n’okubikwatako n’abiwa eky’okulya.

Women's Handicraft Center Abakyala be Abu Dhabi baategekebwa ne bafunirwa ebifo ebitegekeddwa obulungi nga byabwe nga mwe bakolera emirimu naddala egyemikono.

Eno baluka ebiruke n’okutunga ebintu ebitali bimu. Beegattira mu kibiina kya Abu Dhabi Women’s Association, ng’ekimu ku biruubirirwa kwe kulaba nga tebadibya bintu bya dda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.