TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akulira NRM ebweru w'eggwanga asabye abe Luweero okwewala eby'obufuzi ebikutula mu bantu

Akulira NRM ebweru w'eggwanga asabye abe Luweero okwewala eby'obufuzi ebikutula mu bantu

By Ahmed Mukiibi

Added 9th June 2019

Akulira NRM ebweru w'eggwanga asabye abe Luweero okwewala eby'obufuzi ebikutula mu bantu

Hop1 703x422

Akulira Bannayuganda mu mawanga ag’ebweru Hajji Abbey  Walusimbi akubirizza Bannaluweero okwewala eby’obufuzi ebyawula mu bantu era n’abasaba okwongera okuwagira gavumenti ya NRM ebakolerere ku bizibu byabwe.

Yasuuubizza okwongera okusakira abantu b’ekitundu kino n’akubiriza abantu okukola ennyo babeere mu bulamu obweyagaza.Yawaddeyo 1,000,000/-okuzimba omuzikiti gwa Baagalana .

Haji Walusimbi yagambye nti omukolo guno gwagendereddwamu okusabira ab’engandaze okuli bazaddebe abagenzi Haji Juma Kigozi ne nnyina Rukiya Namagembe ne ssengawe Amina Nalumansi n’abalala, nga bwekiragirwa mu Busiraamu.

Omumyuka wa RDC wa Luweero Miriam Kagiiga Mugisha asabye abakulembeze

okukunga abantu beenyigire mu bintu ebibagobako obwavu n'enjala basobole okwekulaakulanya.

Yasinzidde mu kibuga Luweero mu maka ga Abbey Kigozi Walusimbi nga ono n'anenya abakulembeze abatalaga kyakulabirako eri abantu okukola.

RDC yatambudde n'ebitengi bye yagambye nti abigyamu ensimbi kwossa okulima n'okulunda n'ayamba kunkulaakulana y'amaka n'asaba abantu omuli abakyala n'abavubuka okwegatta benyigire munteekateeka za gavumenti ez'okwekulaakulanya.

Maj. Martha Asiimwe eyavudde ku kitebe kya NRM nga ye yakiikiridde omuwandiisi w'enkalakkalira mu ofiisi ya pulezidenti Haji Yunus Kakande yasiimye Haji Walusimbi olw'okubeera omukozi n'okuwagira NRM.

Yasabye bannaLuweero okugenda mu maaso okuwagira NRM gye baaleeta mu buyinza ne pulezidenti Museveni n'abasaba okugenda mu maaso ku lw'obutebenkevu, eby'enjigiriza, eby'obulamu, enguudo, okubunyisa amasannyalaze mu byalo n'ebirala.

Sheikh Mohamad Luwemba eyavudde ku kitebe kya UMSC e Kampala mukadde yakubirizza Abasiraamu okwegatta kubanga nebwekiba kugabana ku keeki ya ggwanga kyangu nga beegasse. Yagambye nti eddiini y’Obusiraamu ebuulira kwagalana na kwegatta.

Ssentebe wa disitulikiti ya Luweero era nga ye ssentebe wa NRM mu disitulikiti eno Ronald Ndawula yasabye abantu okwagalana, okubeera abantubulamu n'okwewala obukyayi eggwanga lisobole okugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...