TOP

Black akubye omuwala eggiraasi

By Musasi Wa

Added 28th September 2011

Yategeezezza nti Black yamusanze mu bbaala eno nga yeewaamu ne mikwano gye, n’amulagira ave we yabadde atudde. Bwe yagaanyi kwe kumukuba eggiraasi eyabaddemu wayini gwe yabadde anywa.

2011 9largeimg228 sep 2011 193244963 703x422

 LATIFAH Nalukenge amanyiddwa nga ‘Black’ akubye omuwala eggiraasi mu ffeesi ne mu kifuba n’amutuusaako ebisago.

Bino byabaddewo ku Ssande ekiro mu bbaala ya Casablanca Pub e Kololo.
Omuwala ono eyakubiddwa ye Esther Akanwasa omutuuze w’e Bbunga. 
Yategeezezza nti Black yamusanze mu bbaala eno nga yeewaamu ne mikwano gye, n’amulagira ave we yabadde atudde. Bwe yagaanyi kwe kumukuba eggiraasi eyabaddemu wayini gwe yabadde anywa.
 
Akanwasa yatwaliddwa mu ddwaaliro lya  The Surgery e Kololo n’ajjanjabibwa, oluvannyuma n’amuggulako omusango ku poliisi ya Kira Road.
 
Ku Lwokubiri, poliisi yakedde kuzinda maka ga Black e Munyonyo wabula n’agaana okubaggulira. Yakubidde balooya be abaayanguye okujja ensonga ne bazimalira mu woteeri ya Speke Resort e Munyonyo.
 
Black yasasudde 5,000,000/- okuliyirira Akanwasa era nga ssente zino zaaleeteddwa mikwano gya Black omwabadde n’omugagga Meddie Ssentongo.
 
Black y’omu ku bawala b’omu Kampala abateeguya ssente, era kigambibwa nti atera okuganza abavubuka abato n’abasasula ssente.
 
Gye buvuddeko omuyimbi Ashawo ow’e Nigeria bwe yali kuno yamusasula doola 3,000 okubeerako naye mu bbaala ya Rouge, era n’agaana abawala abalala okumusemberera.
 
Kigambibwa nti oluvannyuma era ye yamuvuga mu mmotoka ye okumutwala mu wooteeri gye yasula.

Black akubye omuwala eggiraasi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...