TOP

Bukedde afunye omukutu gwa yintanenti omupya

By Musasi Wa

Added 29th September 2011

MU kaweefube wa Bukedde okugondeza mu basomi b’olupapula, abalabi ba Ttivvi n’abawuliriza ba leediyo etaddewo omukutu omuggya kw’obifunira. Kati byonsatule osobola okubifuna ku mukutu omupya ogwa; www.bukedde.co.ug.

2011 9largeimg229 sep 2011 141831917 703x422

MU kaweefube wa Bukedde okugondeza mu basomi b’olupapula, abalabi ba Ttivvi n’abawuliriza ba leediyo etaddewo omukutu omuggya kw’obifunira. Kati byonsatule osobola okubifuna ku mukutu omupya ogwa; www.bukedde.co.ug. 

Omukutu guno gugenda kuweereza ebifaananyi, amaloboozi n’emboozi ennyuvu okutandika nga October 3. Enkola y’emu egenda okubaawo ne ku mukutu gw’Olungereza ogwa www.newvision.co.ug.

Amawulire 
Janat Namulindwa maneja w’emikutu gya yintanenti agamba,  obutafaanako nga bwe kibadde, nga tukyusa amawulire buli luvannyuma lwa ssaawa 24, ku mukutu guno omulongooseemu buli luvannyuma lwa ssaawa tujja kuba nga tukuteerako amawulire amasu agakwata ku bifudde mu ggwanga n’ensi yonna okutwaliza awamu. Gano gajja kuba mu maloboozi ng’era osobola okugawuliriza, ebifaananyi, vidiyo  n’obuwandiike, era kijja kukolebwanga buli lunaku.

Obutabo obw’enjawulo
Ye James Ssemwanga alabirira emikutu gino obutavaako agamba nti mu butabo buno mulimu aka Ssenga akafuluma buli Lwakubiri, Tambula n’omulembe ak’oku Lwomukaaga,  Asiika obulamu ku Lwokuna n’obulala, bwonna bwongeddwaamu ebirungo. Abanoonya ababeezi balidde nga balimi kuba bajja kusobola okweteera butereevu ebifaaananyi byabwe ku yintanenti n’ebirala ebibakwatako kibasobozese okusisinkana abaagalwa be baba banoonya. 

Mu katabo kaffe Sanyuka ne wiikendi akalimu ebifaananyi by’abawala embooko abalya kkaasi nako ebifaananyi byakwongerwamu ku mukutu gwaffe guno. 

Ebifaananyi byonna ebinaafikkanga okugenda mu katabo, katugeze nga wabaddeyo omuyimbi ow’erinnya atongoza olutambi byonna ebibaddeyo byakusangibwanga ku mukutu gwaffe guno. Ebikwata ku bayimbi ab’amannya ne firimu byonna tojja kubisubwa  ku mukutu gwaffe. 

 Agataliiko nfuufu
Gano ge mawulire agoogerwako buli w’oyita, gwe ali ebweru w’eggwanga, obudde gwe bukwatira mu ofiisi, alina essimu eriko yintanenti walidde dda.Ogenda kusobola okulaba amawulire butereevu ng’oyita ku ssimu yo oba ku  kompyuta kw’oba otudde. Si ekyo kyokka, ojja kusobola okuwuliriza leediyo ya Bukedde Fa Ma ne XFM ey’Olungereza. 

‘e-paper’
Mu nkola eno eya e-paper,  egenda kuba ng’esobozesa omusomi wa Bukedde okufuna olupapula ng’ayita ku mukutu guno mu bujjuvu. Kasita okyalira omukutu gwa www.bukedde.co.ug mujja kubaamu akatundu kano aka ‘e-paper’  ng’osangamu olupapula luno mu bujjuvu. Era kijja kukusobozesa okufuna amawulire agaba gayiseeko okugeza ogenze ku mukutu Ssande kyokka ng’oyagala akatabo ka Mmande ya wiiki ewedde oba osobola bulungi okukafuna. 

Okusobola okufuna akatabo kano, bajja kukuwa akabookisi okajjuzeemu ebikukwatako n’ekirala osasuleyo ku ssente entonotono, nazo z’ojja okumanya ng’okyalidde omukutu gwaffe guno.

Abasuubuzi
Nammwe Bukedde yakulowoozezzaako. Osobola okulanga naffe nga tovudde  mu ofiisi yo, sinakindi okukozesa ssimu yo ey’omu ngalo kasita eba ng’erina yintanenti. 

Omusomi waffe obutakulyazaamaanya, olina omukisa okulanga ebyamaguzi byo n’obyanika eri ensi yonna olwo n’ofuna abaguzi ate nga otaddemu ssente ensaamusaamu. 

Osobola okusasula ng’oyita mu nkola ya New Vision eya ‘New Vision Mobile Money’ okukozesa kaadi za bbanka (ATM). Ebirala ebisingawo n’ensasula ojja kubisanga ku mukutu gwaffe ku Mmande.

Si ekyo kyokka wabula era osobola okukozesa omukutu guno okuwuliziganya ne banno abali mu nsi endala n’omanya ebyobusuubuzi bwe bitambula, bbeeyi y’ebintu n’ebirala. Kino kijja kuba kikuwa omukisa n’okulagiriza ebintu e Bulaaya. ng’osinzidde mu Uganda. 

Bukedde afunye omukutu gwa yintanenti omupya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Leb2 220x290

Emmotoka mwe ntambulira etuuse...

Emmotoka mwe ntambulira etuuse okunsuza ku kkuno-Bp. Ssebaggala

Pop1 220x290

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa...

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa okutta Kirumira bateereddwa

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko