TOP

Famire efiiridde mu kabenje mu Mabira

By Musasi Wa

Added 3rd October 2011

ABANTU mukaaga aba famire emu bafiiridde mu kabenje. Ssemaka omukozi wa banka, mukyal we n’abaana baabwe babiri wamu n’omukozi wa waka baafudde mu kabenje akaatuze abantu abalala bana mu Mabira ku luguudo lw’e Jinja ate abalala 7 ne basimattuka n’ebisago.

2011 10largeimg203 oct 2011 012455140 703x422

Bya BASASI BA BUKEDDE

ABANTU mukaaga aba famire emu bafiiridde mu kabenje. Ssemaka omukozi wa banka, mukyal we n’abaana baabwe babiri wamu n’omukozi wa waka baafudde mu kabenje akaatuze abantu abalala bana mu Mabira ku luguudo lw’e Jinja ate abalala 7 ne basimattuka n’ebisago.

Abaafudde ye Daniel Mirembe abadde akolera mu banka ya Standard Chartered, mukyala we Lilian Kirabo abadde dayirekita wa Bright Lillies Nursery and Day Care Centre e Mutungo, abaana: Jonathan Mirembe 2, Nicol Asiimwe 5,

Nyambura omwana wa mukwano gwabwe n’omukozi ataategeerekese mannya ab’e Bweyogerere Bbuto ate munnaabwe Ann Njiru munnakenya gwe baabadde naye mu mmotoka yasimattuse.

Abalala abaafudde ye: Sulait Kaweesa omuvuzi wa sipensulo e Lugazi, ttanibboyi wa lukululana ataategeerekese mannya wabula ng’omulambo gwe poliisi yagunnyuludde mu mazzi nga kiteeberezebwa nti yabadde agezaako kubuuka mu mmotoka we yamunyigidde n’omusajja ataategeerekese.

Akabenje kano kaaguddewo ku Lwomukaaga akawungeezi ne kazingiramu mmotoka ssatu; lukululana, Toyota Hiace ey’essomero nnamba UAK 348W aba famire mwe babadde batambulira ne Toyota Corolla eya sipensulo. Mmotoka zaatomereganidde Najjembe mu Mabira ku kigenda e Kinoni.

Abaasimattuse be ba: Bosco Bangalane, R. Samanya ow’e Najjembe, Bavugehere B ow’e Lukaya, David Kidugu ow’e Bweyogerere, Christine Ssanyu Nabachwa ow’e Seeta omukozi mu World Vision e Tororo, Dr. Benson Barugahare, omusomesa mu Busitema University, Yuni Waweru naye mukozi wa bbanka eno.

Abalumiziddwa baweereddwa ebitanda mu ddwaaliro e Kawolo kyokka ddereeva wa loole yadduse. George Garyahandeere, jjajja wa Kirabo yategeezezza nti abagenzi baabadde bava ku Kiyira kulambula. Aba famire bagenda kusabirwa mu kkanisa ya All Saints e Nakasero olwaleero oluvannyuma baziikibwe e Buhandagazi mu Ggombolola y’e Buyanja e Rukungiri.

Akulira poliisi y’ebidduka mu buvanjuba bw’eggwan-ga, Moses Mutabingwa yagambye nti ddereeva wa lukululana alabika yavudde ku ludda lwe okulumba ab’emmotoka entono.

Famire efiiridde mu kabenje mu Mabira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...

Longombacmykjpgrjb 220x290

VJOj Isaac akubye oluyimba ne Longomba.lwe...

VJOj Isaac ye Munnayuganda asoose okukuba oluyimba (Kolabo) n'omukulu ono era oluyimba lwabwe balutuumye Sekemba....