TOP

KCCA emenye akatale k’e Wandegeya

By Musasi Wa

Added 3rd October 2011

ABASUUBUZI b’e Wandegeya basigadde mu bbanga KCCA bw’ezinze n’emenya akatale kaabwe mu ntegeka y’okubazimbira akapya era bangi ku babadde bakakoleramu basengukidde mu kibangirizi ekitunudde ku nkulungo y’e Mulago.

2011 10largeimg203 oct 2011 013531507 703x422

Bya HANNINGTON NKALUBO


ABASUUBUZI b’e Wandegeya basigadde mu bbanga KCCA bw’ezinze n’emenya akatale kaabwe mu ntegeka y’okubazimbira akapya era bangi ku babadde bakakoleramu basengukidde mu kibangirizi ekitunudde ku nkulungo y’e Mulago.

Bangi ku basuubuzi abasangiddwa nga bategula ebintu ebibadde bisigaddemu baagambye nti wadde tebaweereddwa budde bumala naye bakisanyukidde kubanga akatale kabadde kakaddiye nnyo.

“Ffenna tusenguse ne tugenda mu maaso g’enkulungo y’eddwaaliro ly’e Mulago era tusaba Gavumenti eyanguye tusobole okuddawo,” ssentebe w’abasuubuzi, Mawejje Muteesaasira bwe yagambye.

Akatale konna ng’ogasseeko n’ekifo awabadde wookerwa enkoko ekya Bermuda byaweddewo. Ttulakita ne bakanyama abaapangisiddwa okuyamba ku baserikale ba KCCA be baamenye akatale ne Bermuda awatali kusanga buzibu wadde abamu baabadde balowooza nti abasuubuzi bagenda kwegugunga.

Mawejje yagambye nti Gavumenti erudde ng’ebasuubiza okubazimbira akatale ak’omulembe ka buwumbi 21 era tebasobola kugisimbira kkuuli.

Akulira entegeka y’okuzimba obutale mu KCCA, Margaret Ssemwanga Azuba yagambye nti okuzimba kugenda kutwala emyaka ebiri.

‘Tubadde tukolera wakyafu’

Omusuubuzi Florence Kitakule: KCCA yatuwa obudde obumala okwamuka akatale era ffe okumenya kwasanze twasenguse dda ne tugenda e Mulago ku nkulungo nga bwe tulinda Gavumenti etuzimbire akapya.

Margaret Ssanyu: Entegeka y’okutusengula yabadde nnungi era nneebaza abadde ssentebe waffe Mw. Gitta okutufunira ekifo e Mulago we twasengukidde.

Omusuubuzi Charles Kasajja: Ssirina kye nneemulugunya kyonna kubanga twategeezebwa mu budde okuggyako nsaba Gavumenti eyanguye okuzimba.

Joseph Mulahi; abadde akolera mu kifo ky’e Mulago, abasuubuzi gye baasengulidde: Abasuubuzi ababadde mu katale k’e Wandegeya babamaliddewo ekifo.

Eseza Namuleme: Gavumenti yatuwa obudde obumala okusenguka era tuli basanyufu okuvaayo etuzimbire akatale akapya okusinga akakadde akabadde ganyegenya.

Ssentebe w’abasuubuzi, Mawejje Muteesaasira: Abasuubuzi twabawa obudde obumala okusenguka era eyeemulugunya aba alimba. Tubadde tukolera mu kifo ekikyafu ate ng’akatale kakadde nnyo era tuli basanyufu.

KCCA emenye akatale k’e Wandegeya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako