TOP

KCCA eyongedde okumenya ebizimbe

By Musasi Wa

Added 3rd October 2011

AKULIRA Kampala Jennifer Musisi ayongedde okutabukira bannannyini bizimbe bwamenye amaddaala ku bizimbe ebirala n’alabula nti agenda kuzaako kumenya madduuka agassibwa mu bifo ebyalina okubaamu paakiingi.

Bya HANNINGTON NKALUBO

AKULIRA Kampala Jennifer Musisi ayongedde okutabukira bannannyini bizimbe bwamenye amaddaala ku bizimbe ebirala n’alabula nti agenda kuzaako kumenya madduuka agassibwa mu bifo ebyalina okubaamu paakiingi.

“Buli kye tukola tusooka kulabula oyo akwatibwaako era bannannyini bizimbe byonna twabalabula dda okubyemenyera naye ne bagaana ffe kwe kubimenya,” omwogezi w’akulira ekibuga Peter Kawujju bwe yagambye.

Eggulo KCCA yayongedde okumenya amaddaala ku bizimbe okuli ekya JESCO Plaza, ekya Skylite, ekya Mini Price n’ebirala a.

Kawujju yagambye nti bakyagenda mu maaso n’okumenya nga bwe bazze balabula. ‘tugenda kuzaako obuyumba omuli amadduuka obwassibwa mu bifo ebimenya amatteeka n’ebizimbe ebyava ku pulaani.

Ebyali biteekwa okubeeramu paakingi naye ne zitassibwako ne basaamu amadduuka tugenda kugamenya,” Kawujju bwe yagambye.

Omu ku bagagga Francis Drake Lubega yagambye nti bateekwa okugondera amateeka ga KCCA.

KCCA eyongedde okumenya ebizimbe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...

Newsengalogob 220x290

Lwaki abasajja abamu tebaagala...

LWAKI abasajja abamu tebaagala bakazi oba muwala aliko embuzi?

Lovelies 220x290

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo...

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu....