TOP

Akatale ka Napier e Jinja Kayidde

By Musasi Wa

Added 3rd October 2011

AKATALE ka Napier akali okumpi ne Paaka ya bbaasi mu kibuga Ky’e Jinja, kayidde ebintu by’abasuubuuzi ebibalirirwaamu obukadde bw’ensimbi n’ebitokomoka.

2011 10largeimg203 oct 2011 023032960 703x422

Bya TONNY NSOONA

AKATALE ka Napier akali okumpi ne Paaka ya bbaasi mu kibuga Ky’e Jinja, kayidde ebintu by’abasuubuuzi ebibalirirwaamu obukadde bw’ensimbi n’ebitokomoka.

Omuliro gwatandiise ku ssaawa 5.00 ez’ekiro nga kisuubiirwa nti gwavudde ku ssigiri eyalekedwaako omuliro nga abafumbi b’emmere abakolera mu katale kano mu kiro ekyakeseeza Olwassande.

Omuliro gwatankidde wano ne gwokya obuyumba, wadde abazikiriza omuliro baleese mmotoka ttaano, kyokka wegwazikiridde ng’obuyumba 100 busirisse.

Peter Wakyemba akulira ekifo kino yategeezezza nti abantu abasukka mu 110 be baafiiriidwa ebintu byabwe.

Ssentebe wa NRM mu Musipaali, Moses Kaliisa Kalangwa ye yasoose okuduukirira abasubuuzi bwe yabawadde emitwalo 50 zibayambe okuzzaawo emidaala gyabwe.

Yabasuubiiza nti gavumenti egenda kubasindikira Minisita balabe engeri y’okubakwatizaako ku kizibu ekyabatuseeko.

Akatale ka Napier e Jinja Kayidde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top11 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo...

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo z’amapaapaali akola ku maaso ne kookolo ? Soma wano mu mboozi z'omukenkufu

Wat12 220x290

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula...

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula Vipers mu Stambic Cup

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu