TOP

Muweerere abaana basobole okuvuganya - Kabaka

By Musasi Wa

Added 3rd October 2011

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akubirizza abazadde okufaayo okuweerera abaana baabwe n’okubawa ebyetaago by’amasomero basobole okusoma batuuke ku mutindo oguvuganya n’emisinde egya yiriyiri ensi kw’eddukira.

2011 10largeimg203 oct 2011 023802720 703x422

Bya HENRY NSUBUGA

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akubirizza abazadde okufaayo okuweerera abaana baabwe n’okubawa ebyetaago by’amasomero basobole okusoma batuuke ku mutindo oguvuganya n’emisinde egya yiriyiri ensi kw’eddukira.

“Wadde embeera ya buli kimu mu ggwanga ensangi zino yeekanamye, muyambe abaana basome temugeza kubagayaalirira,” Kabaka bwe yalagidde abantu be.

Kabaka yabadde ayogera eri Obuganda ku Lwomukaaga mu Ssaza ly’e Kyaggwe ku ssomero lya Seroma Christian High School e Nakisunga mu Disitulikiti y’e Mukono.

Yabadde aggalawo empaka z’okuyimba, okuzannya, okuzina, okutontoma n’okuzannya emizannyo eza Buganda Royal Arts Shield Festival wansi w’omulamwa gw’omwaka guno “Oluganda lw’Omuganda ne Kabaka we gwe musaayi ogukira amazzi obuka”.

Kabaka yakubirizza abaana okufaayo ennyo mu by’okusoma kuba lwe bajja okusobola okubeera ab’omugaso mu ggwanga.

Kabaka oluvannyuma yakwasizza amasomero asatu engabo okuli eya “Kuno kwe kwaffe” eyawanguddwa essomero lya St. Peters P/S e Kyengera, engabo ya “Ssanyu lya Buganda” eyawanguddwa essomero lya St. Julian High School e Gayaza n’engabo kamalabyonna eya “Royal Family Shield” eyawanguddwa essomero lya New Hope Primary School e Kasenge.

Muweerere abaana basobole okuvuganya - Kabaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...