TOP

Baddereeva ffe tusobola ttenda eyo

By Musasi Wa

Added 23rd September 2011

Noah Muzawula: Pulezidenti yatuwa amagezi nti buli omu alina okulembekera w’akolera era ffe baddereeva ffe tusaanye okuddukanya ttenda y’okwesoloozaamu ssente tetujja kukkiriza balala kutwala ttenda.

Ibrahim Muwonge: Abantu be baagala okuwa ttenda ssi baddereeva era bagenda kutuggyamu bugg

Noah Muzawula: Pulezidenti yatuwa amagezi nti buli omu alina okulembekera w’akolera era ffe baddereeva ffe tusaanye okuddukanya ttenda y’okwesoloozaamu ssente tetujja kukkiriza balala kutwala ttenda.

Ibrahim Muwonge: Abantu be baagala okuwa ttenda ssi baddereeva era bagenda kutuggyamu buggya ssente ssinga ttenda eno bagituwa tujja kusobola okwesolozaamu emisolo tusasule eggombolola ate tutereke n’ezaffe eza ‘welfare’.

Hajji Yahaya Kamulegeya: Olukiiko lw’eggombolola bwe lunaagaana okuwa ffe baddereeva ttenda eno tetujja kuddamu kusasula ssente za lisiiti wadde endala zonna ze batuggyako buli lwe tutikka takisi.

Ronald Ngobi, asolooza lisiiti ez’okutikka takisi: Baddereeva basasula ssente ez’okutikka 3,000/- ku siteegi y’e Jinja 4,500/-, ku siteegi ye Kampala ne Kayunga ne basasula 3,000/- kye babadde bagondera naye okuva lwe baawulidde nti ttenda yagabiddwa eri abantu abalala, beekyaye.

Venancio Ssenoga: Tetulina paaka ya nkalakkalira e Kangulumira era tutikkira ku siteegi ez’enjawulo kyokka nga tusasula eza lisiiti ezigenda ku lukiiko lw’ekibuga Kangulumira nsaba batufunire paaka.

Bruhan Maruje, avunaanyizibwa ku mpisa ku kakiiko akafuga baddereeva: Ttenda bw’etaweebwe ffe baddereeva, tetujja kusasula ssente za lisiiti wadde endala zonna ezituggyibwako buli lunaku.

Siraje Wavamwino wa byamawulire mu kibiina: Pulezidenti lwe yakyala e Kangulumira mu kkampeyini yatugamba buli omu okukolera mu mulimu gwe naffe twamutegeeza nti twagala ttenda yaffe bagitukwase tugyeddukanyize.

Baddereeva ffe tusobola ttenda eyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?