TOP

Eddagala likwasizza abasawo b’e Mulago

By Musasi Wa

Added 23rd September 2011

Abasawo abaakwatiddwa kuliko: Christine Nakabembe, Aisha Natembe, Nnalongo Nakayima ye yatolose ku poliisi n’aduuka. Akulira eddwaaliro lino, Dr. Byarugaba Baterana yategeezezza Bukedde nti okukola ekikwekweto kino kiddiridde abajanjabi okuyitirira obungi mu ddwaaliro lino ne basalawo babakendezee

Abasawo abaakwatiddwa kuliko: Christine Nakabembe, Aisha Natembe, Nnalongo Nakayima ye yatolose ku poliisi n’aduuka. Akulira eddwaaliro lino, Dr. Byarugaba Baterana yategeezezza Bukedde nti okukola ekikwekweto kino kiddiridde abajanjabi okuyitirira obungi mu ddwaaliro lino ne basalawo babakendezeeko wabula ne babategezza nti baba baleese ddagala lye bagula ebweru.

“Kino kyampalirizza okuyita bambega ba poliisi okunoonyereza eddagala lye bateeka mu ddwaaliro wa gye liraga, era ne bakizuula ng’abamu ku bannansi be balibba ne balikweka mu kaabuyonjo zaabwe,” bw’atyo bwe yategeezezza.

Abalwadde baabategeezezza nti eddagala likwekebwa mu kaabuyonjo ya waadi 5C abakyala gye bazaalira.

Ye nnansi Aisha Natembe ategeezezza poliisi nti mu ddagala lye bakutte abaddemu ne pampa azibikkira omusaayi ebidondi bibiri nga yali yabisuubula ku 8000/- era ng’abitunda 10,000/- afuneko akasente akalabirira abaana be.

Ekikwekweto kino kikwatiddemu n’abakyala abasiimuula eddwaaliro bana nga bababdde bakozesebwa abasawo bano okutunda eddagala lino. Nga kubo kuliko: Hadijah Nassiwa, Margaret Birungi, Max Nanyombi n’abalala.

Akulira poliisi y’e Mulago, IP Andrew Lobongore yagambye nti abakwate bagguddwako gwa kubba eddagala lya Gavumenti ku fayiro nnamba SD:13/22/09/2011 ne SD:18/21/09/2011.

Eddagala likwasizza abasawo b’e Mulago

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi