TOP

Amateeka g’ebidduka gassibwe mu nkola

By Musasi Wa

Added 12th September 2011

SSEBO BUKEDDE, Nsooka okwebuuza oba amateeka agakolebwa mu ggwanga llino gabaako ekiseera ekigere nga bwe kiggwaako gakoma okukola. Ekimu ku bisinga okunnuma ge mateeka agafuga ebidduka.

Baatuteerawo etteeka ly’okwesiba emisipi kyokka bw’osanga omusipi ogukola mu takisi mu kiseera ki

SSEBO BUKEDDE, Nsooka okwebuuza oba amateeka agakolebwa mu ggwanga llino gabaako ekiseera ekigere nga bwe kiggwaako gakoma okukola. Ekimu ku bisinga okunnuma ge mateeka agafuga ebidduka.

Baatuteerawo etteeka ly’okwesiba emisipi kyokka bw’osanga omusipi ogukola mu takisi mu kiseera kino mpozzi nga mpya. Ekimu ku bisinze okuvaako obubenje bw’ebidduka kwe kuvuga endiima wabula sipiidi gavana ezaalagirwa okussibwa mu bidduka bino zaadibizibwa dda kyokka ng’obulamu bw’abantu busaanawo buli lukedde. Era lipooti eweebwa poliisi eraga nti obubenje buva ku kuvugisa ndiima.

Emmotoka enkadde nazo zisusse obungi ng’abantu batambulira ku bunkenke. Wabula wadde abavunaanyizibwa bino byonna babimanyi, balabika ng’abatakifaako. Nsaba amateeka agassibwawo tugasse mu nkola ate gasigale nga gagobererwa.
Betty Kasirye, Masaka Road.

Amateeka g’ebidduka gassibwe mu nkola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...

Newsengalogob 220x290

Lwaki abasajja abamu tebaagala...

LWAKI abasajja abamu tebaagala bakazi oba muwala aliko embuzi?

Lovelies 220x290

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo...

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu....