TOP

Obubenje busse babiri

By Musasi Wa

Added 11th September 2011

Ate ku luguudo lw’e Salaama okumpi n’e Makindye  abantu mwenda omubadde abava mu takisi n’abalala abaabadde batambulira ku bodaboda baagudde ku kabenje emmotoka ya buyonjo bw’ebayingiridde n’ebagoya.

Abaafudde e Bwaise ye Julius Giduda 22, omuyizi mu ttendekero lya Makerere Bu

Ate ku luguudo lw’e Salaama okumpi n’e Makindye  abantu mwenda omubadde abava mu takisi n’abalala abaabadde batambulira ku bodaboda baagudde ku kabenje emmotoka ya buyonjo bw’ebayingiridde n’ebagoya.

Abaafudde e Bwaise ye Julius Giduda 22, omuyizi mu ttendekero lya Makerere Business Institute e  Makerere ne mugandawe Vincent Masika ow’e Bwaise  gwabadde awerekerako.

Abalala abaalumiziddwa ye Sarah Namazzi omufumbi w’emmere mu kitundu kino  n’omusajja omulala ataategeerekese mannya.

Akabenje kano kaabaddewo ku ssaawa nga 7.30 ez’emisana ku Ssande  ku luguudo lwa Sir Apollo Kaggwa e Bwaise takisi UAJ 624M eyabadde eva e Kampala ng’edda e Bombo  bwe yalemeredde omugoba waayo n’erumba abantu abantu bano ku mabbali g’ekkubo.

Akulira poliisi y’ebiduuka e Kawempe, Muzamir Mbadi yagambye nti dereeva olwamaze okukola akabenje n’adduka.
       
Ku lw’e Salaama, abaagoyeddwa kuliko John Bosco  Mayanja, Edward Ssebulo, Daniel Baziira, John Odoma, Falid Nambooze George Buyinza ne Robinah Nantale.

Bano bonna baddusiddwa mu ddwaaliro ly’e Mulago ng’abamu bakutuuse amagulu n’emikono abalala ne bafuna ebisago eby’amaanyi.

Abamu ku basinze okulumizibwa baategeezezza nti bbo baabadde bava mu takisi ku lw’e Salaama nga batuuse gye balaga mmotoka y’obuyonjo gye batakutte nnamba n’ebayingirira n’ebagoya era ng’eno gye yasanze n’abaabadde ku bodaboda.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Iddi SSenkumbi yategeezezza nti baabadde tebannategera kituufu kyavuddeko kabenje kano era nga ne dereeva w’emmotoka eyatomedde tebamanyi gy’ali.

Obubenje busse babiri

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...