TOP

Abakristaayo mwenenye ebibaggya ku Katonda

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd February 2011

SsaAbadinkon i w’e Mengo mu bulabirizibwa bw’e Namirembe, Ven Gitta Kavuma asabye Abakristaayo okuwaayo obudde eri Katonda nga bayita mu kusaba naddala mu biseera bino nga tulinda okuzuukira kwa Yesu okukyusibwa okuva mu kutamiirukuka mu bikolwa ebiyinza okuba nga byakuseeseetula okuva ku Katonda n’okumusaba okukuluhhamya obutabiddamu.

Yagambye nti ekiseera kino kikulu mu bulamu bw’Omukristaayo kuba kizingiramu okwenenya ebikuseeseetula okuva ku Katonda.

Okutamiirikuka tekukoma ku kunywa mwenge gwokka wabula abantu batamiira mu bintu bingi omuli obwenzi, obulimba, enkwe, obulyazaamaanya, amalogo n’ebirala ebibaggya ku Katonda.

Yabakuutidde n’okuwaayo obudde basabire amaka naddala abaana okusobola okufuna fiizi ate bwe batuukayo bakole ekyo ekibatutteyo oluvannyuma nga bamalirizza bafune emirimu n’okufumbirwa.

Okubonaabona abaana kwe bayitamu nga banoonya emirimu n’ababeezi oluvannyuma lw’okumaliriza okusoma kubaggya ku Katonda kuba abamu kubatuusa n’okukola ebitatuukana na kwagala kwa Katonda olw’okuggwaamu essuubi wabula mu kusaba bino byonna bivvuunukwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Unity 220x290

Mutabani wa Chamilli anyiga biwundu...

EDMOND Osutu omutuuze w’e Kyebando Nsooba agambibwa okuba omukozi mu bbaala ya DNA Lounge esangibwa ku luguudo...

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka