Oluyimba luno olw’eddiini lukubiriza abantu okudda eri Mukama nga bayita mu kumutendereza olw’ebirungi by’abakolera mu bulamu.
Akubiriza abantu okudda eri omutonzi kuba mwetegefu okubaaniriza n’okubakolera ebyamagero.
Ekimu ku bitundu mu luyimba luno kigenda bwe kiti; ‘Ntamiiza omukwano gwo nga bwe wakola Paul ne Sira gunyumira omukwano gwa ddala, tegulinga guli ogw’abapangirira, tegubeera ggwa ddala, bwe bakuwa eddagala bamala ate ne baliwalula, ekinnuma mbimanyi naye ate mpaala ...’ Oluyimba luno yalukwatidde mu Onyx Studio ewa Kasumbi.