TOP

Abdul Mawejje laavu emututte mu bire

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd February 2011

OMUYIMBI Abdul Mawejje, 27 ng’abeera Ntebe aleese akayimba akapya k’atuumye Bire ng’attottola engeri laavu ya mwana muwala gwe yasanga mu Kampala gy’emututte mu bire.

Agamba nti omukwano mwanamuwala ono gw’amulaze gumususseeko nga n’olumu azuukuka ng’awulira ali waggulu mu bire kubanga talina ky’amujuza naddala mu nsonga z’omukwano.

Akayimba kano yakakoledde mu situdiyo ya Jonah e Makindye ng’alina n’obuyimba obulala nga, Oli Bulangiti, Tebwansala n’endala ezimufudde ow’amaanyi mu bantu.

Agamba nti yeekakasa ekitone kye wadde nga tannafuna bulungi ssente era bwe wabaayo omuntu asobola okumussaamu ensimbi, mwetegefu okukuba omuziki.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga