TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Baagala kuntwalako ttaka lyange mu lukujjukujju

'Baagala kuntwalako ttaka lyange mu lukujjukujju

By Musasi wa Bukedde

Added 17th February 2011

Kirabira yategeezezza nti mu August 24, 2004 yakola endagaano ne kkampuni eno n'abawa liizi ya myaka 15 nga bakozesa ettaaka lye bw'eggwaako bagende.

Endagaano gye yakola ne kkampuni eyo, Sekabira agamba nti eggwaako mwaka guno wabula aba Petro City tebakyamusasula okuva October omwaka oguwedde.

Agamba nti bwe yagezezzaako okubanja tebamusasula. EBIRI MU NDAGAANO Yakolebwa nga August 24, 2004 wakati wa Kirabira ne Petro City Enterprise Uganda Ltd era nga Arish Ascodia ye yakiikirira kkampuni.

Baalagaana nti balina okumalawo emyaka 15 bagende. Tebalina kuteekawo nkulaakulana yonna okuggyako nga bamaze okuwandiikira Kirabira era bwe balibeera babuzaayo ebbanga ttono emyaka 15 okuggwaako balina okuwandiikira Kirabira.

Kirabira yagambye mu kiseera kino Harkesh Manrah maneja wa Petro City Enterprise Uganda Ltd. ensonga y'azirimu naye tamufaako.

Bwe twayogedde ne Harkesh Manrah ku ssimu yakkirizza nti, ensonga zino azimanyi era Kirabira baamuyita bamuwe ssente ze wabula ne yeerema.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.