TOP

Kansala aziikiddwa mu biwoobe

By Musasi wa Bukedde

Added 17th February 2011

ABANTU beeyiye mu kuziika kansala Andrew Ndyanabo Nsekanabo abadde akiikirira eggombolola y'e Bulera ku disitulikiti e Mityana eyafiira mu kabenje.

Akabenje kaagwawo ku Lwokusatu ku kyalo Kikumbi mu ggombolola y'e Busimbi mu disitulikiti y'e Mityana oluvannyuma lwa lukululana nnamba KCH 034T eyali ku misinde okutomera pikipiki nnamba UDX 512 S eyaliko kansala Andrew Ndyanabo eyafiirawo ne munne Yudah Mawejje eyafiira mu ddwaaliro e Mulago.

Mu kuziika kuno, Hon. Francis Zaake omubaka akiikirira Munisipaali y'e Mityana mu Palamenti yasiimye enkolagana omugenzi Ndyanabo gy'abadde nayo eri abantu bonna.

Ate mu bubaka bwa minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi era omubaka akiikirira Mityana North mu Palamenti, Godfrey Kiwanda Suubi bwe yatisse ssentebe wa NRM mu disitulikiti y'e Mityana, Hajji Haruna Kibirige yasaasidde obooluganda n’emikwano okuviibwako omuntu ow’omugaso.

Ndyanabo abadde ateekateeka kwanjulwa Gertrude Mukamusoni ng'omukolo gubadde gwa kubeerawo nga May 4, 2019 e Miseebe mu Mityana.

Nsekanabo yaziikiddwa ku Lwokutaano ku kyalo Miseebe mu gombolola y'e Bulera mu disitulikiti y'e Mityana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...