TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lukwago akyalemedde ku Ssematimba ku by’obuyigirize

Lukwago akyalemedde ku Ssematimba ku by’obuyigirize

By Musasi Wa

Added 1st December 2010


“Nninda ennaku ze nnawa akakiiko akavunaanyizibwa ku mutindo gw’ebyenjigiriza mu ggwanga ziggweeko ng’ende mu kkooti ku nsonga y’obuyigirize,” Lukwago bwe yagambye.

Bino yabyogedde bwe yabadde mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku ofiisi z’ekibiina ekigatta bann


“Nninda ennaku ze nnawa akakiiko akavunaanyizibwa ku mutindo gw’ebyenjigiriza mu ggwanga ziggweeko ng’ende mu kkooti ku nsonga y’obuyigirize,” Lukwago bwe yagambye.

Bino yabyogedde bwe yabadde mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku ofiisi z’ekibiina ekigatta bannamawulire mu ggwanga ekya UJA.

Yagambye nti ebiwandiiko bya Ssematimba byonna byalina teyabiwaayo mu budde era ye asazeewo kugenda mu kkooti.

Kyokka Ssematimba azze naye alabula Lukwago akomye okumusiiga enziro nti teyasoma.

Yagambye nti alina ebiwandiiko byonna ebyetaagisa omuntu okwesimbawo ku bwammeeya era abyagala yenna agende mu kakiiko k’ebyokulonda babimuwe.

Ate Lukwago yagambye nti tagenda kukkiriza tteeka eppya eriggyako meeya obuyinza bwe ne limufuula meeya wa mikolo.
      
 ‘Ngenda kuwakanya etteeka eryo okukakasa nti nsigala nnina obuyinza obwenkomeredde kubanga nze ngenda okuba ssentebe w’ekibuga,” Lukwago bwe yagambye.

Lukwago akyalemedde ku Ssematimba ku by’obuyigirize

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Newsengalogob 220x290

Lwaki toyagala kwegatta?

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka...

Newsengalogob 220x290

Nvaamu ekisu

LWAKI nvaamu ekisu nga neegasse n’omusajja?

Newsengalogob 220x290

Namukwatira mu bwenzi

MUKYALA wange namukwata lubona n’omusajja naye namusonyiwa.

Newsengalogob 220x290

Takyantuusa ku ntikko

omwami wange takyantuusa ku ntikko

Kamenke1 220x290

Abadde yaakayimbulwa bazzeemu okumukwatira...

Kiwanuka abadde yaakayimbulwa mu kkomera e Luzira gye yasindikibwa ku kibonerezo eky’emyaka etaano oluvannyuma...