TOP

Omuyizi yeeyokezza n’afa lwa kumukyawa

By Musasi Wa

Added 19th November 2010

Baliraanwa abaabadde bawummuddeko oluvannyuma lw’amalya g’ekyemisana be baalabye erikka nga littunka okutuuka ku muzigo nga yeesibiddemu. Abaduukirize nga bakulemberwa aba LC baamenye oluggi ne baggyamu Asimwe ng’ataawa.

Asimwe eyayidde omubiri gwonna gwayubuseeko eddiba era ng’a

Baliraanwa abaabadde bawummuddeko oluvannyuma lw’amalya g’ekyemisana be baalabye erikka nga littunka okutuuka ku muzigo nga yeesibiddemu. Abaduukirize nga bakulemberwa aba LC baamenye oluggi ne baggyamu Asimwe ng’ataawa.

Asimwe eyayidde omubiri gwonna gwayubuseeko eddiba era ng’ayogera ng’olulimi terusituka bulungi n’ategeeza nti amafuta ye yagaguze n’akoleeza omuliro wabula bwe yalabye olubabu lumutta kwe kuleekaana.

“Nze Hilder Asimwe nsomera ku MBI nnina mwannyinaze ku Yunivasite e Makerere ye Geofrey Isingoma ebisingawo ajja kubibabuulira batuzaala Hoima,” Asimwe bwe yategeezezza ng’ataawa n’alekera awo okwogera.

Bamusitulidde ku mufaliso gwe ogwabadde guwonyewo okumuteeka ku kabangali ya poliisi ne bamutwala mu ddwaaliro e Mulago gye yafiiridde ku Lwokutaano ku makya. Jane Nakaju ow’oku muliraano yategeezezza nti embeera za Asimwe zibadde zikyuse ennaku zino wabula nga tababuulira naye nga bawulira mu lugambo nti yafuna olubuto ate omulenzi n’amwefuulira kale abadde agamba nti talina bw’anadda waabwe ng’ali lubuto ate ng’emisomo egyamuleeta tannaba kugimaliriza.

Abamu babadde bagamba nti eggulolimu Asimwe yasoose kwagala kumira mpeke eza piriton nga nnyingi ne bazimugaana. Owebyokwerinda mu kitundu, Godfrey Kasule yategeezezza nti omuwala abadde tamumanyi ng’alabika mupya mu kitundu kyokka abadde talina kibi ky’amanyi ku bapangisa ku nju za Joseph Tanga  kw’abadde apangisa.

“Asimwe yabadde yeesibiddemu ng’omuliro gwaka nnyo oluggi ne tulumenya ne tuyiwamu ettaka okuzikiza omuliro omuwala ne tumuggyamu ng’ayidde olususu lwonna,” Kasule bwe yannyonnyodde.

Kyokka oluvannyuma kyazuuliddwa nti Isingoma gwe yabadde ayogeddeko nga mmwanyina ye muganziwe era Poliisi yamukutte nga kati akuumirwa y’e Nakulabye.
 
 
Â

Omuyizi yeeyokezza n’afa lwa kumukyawa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...