TOP

Abaana basatu baggyiiridde mu nju

By Musasi Wa

Added 16th November 2010

Yazzeeyo mu katale gy’akolera azingeko ebibye annyuke. Yabadda akyasibako, muliraanwa n’ajja ng’awejjawejja n’amugamba nti ennyumba ye ekutte omuliro, abaana be basatu ne bafiiramu.

Bino   byabadde   ku  kyalo Kinogola mu Ggombolola y’e Kalungu mu Disitulikiti empya ey’e Kalungu.

Yazzeeyo mu katale gy’akolera azingeko ebibye annyuke. Yabadda akyasibako, muliraanwa n’ajja ng’awejjawejja n’amugamba nti ennyumba ye ekutte omuliro, abaana be basatu ne bafiiramu.

Bino   byabadde   ku  kyalo Kinogola mu Ggombolola y’e Kalungu mu Disitulikiti empya ey’e Kalungu.

Nannyunja  attottola  nti,  ‘bulijjo abaana mbajja ku mulimu nga mmaze okubawa ekyeggulo era ne kuluno bwe gwabadde.

Olwamaze okubayingiza mu nnyumba ne beebaka nange ne nfuluma okuddayo mu katale nzingeko ebyange nkomewo ewaka’.

“Nnabadde nkyazingako ebintu muliraanwa Julius Matovu n’atuuka n’akantema nti ennyumba yange eyidde yonna,” Nannyunja bwe yategeezezza Bukedde ng’amaziga gamuyitamu.

Ennyumba eyayidde ya bisenge bibiri n’eddiiro era abaana bonna okuli: Sharon Nalubega 8, Jovan Seguya 5 ne Robina Nansamba 2 mwe babadde basula.

Nannyunja agamba nti mu nnyumba eno eyali eya kitaawe omugenzi Vincent Katumba, teyaleseemu kataala wadde omusubbaawa era tamanyi kyavuddeko muliro.

Wabula ssentebe w’ekyalo kino, George Mutumba alumiriza nti Nannyunja oluusi abadde amanyi okusindika abaana bakomewo ewaka mukulu waabwe Nalubega n’abawa emmere ng’amulisa n’akataala ka tadooba era ye Mutumba awakanya ebigambo bya Nalubega nti mu nnyumba teyaleseemu ttaala.

Abaana basatu baggyiiridde mu nju

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup