TOP

Pam Awards za leero

By Musasi Wa

Added 5th November 2010

ABAYIMBI ab’amannya batuuyana bwe zikala olw’empaka za PAM Awards ezitegekeddwa olwaleero (ku Lwomukaaga) e Lugogo mu kifo ky’emyoleso. Abayimbi abasinga okubeera ku bunkenke be bavuganya ku ky’omuyimbi w’omwaka omuli Jose Chameleone owa Basiima Ogenze, Bebe Cool owa Akaseppiki, Bobi Wine

ABAYIMBI ab’amannya batuuyana bwe zikala olw’empaka za PAM Awards ezitegekeddwa olwaleero (ku Lwomukaaga) e Lugogo mu kifo ky’emyoleso. Abayimbi abasinga okubeera ku bunkenke be bavuganya ku ky’omuyimbi w’omwaka omuli Jose Chameleone owa Basiima Ogenze, Bebe Cool owa Akaseppiki, Bobi Wine owa Mr. Money ne Goodlyfe omuli Moze ne Weasel abalina Ngenda maaso.

Ng’oggyeeko Chameleone eyaakawangula engule eno emirundi ebiri (2003 ne 2004) ne Bobi Wine eyagiwangula mu 2006, Bebe n’abavubuka ba Goodlyfe bwe batalima kambugu, bbo tebagiwangulangako.

Ebiti ebirala ebiriko okuvuganya okw’amaanyi mulimu olutambi lw’omwaka, Akaseppiki (Bebe Cool), Vumilia (Chameleone), Ngenda Maaso (Radio & Weasel) ne Mr. Money olwa Bobi Wine.

Oluyimba Akaseppiki olwa Bebe Cool ne Basiima Ogenze olwa Chameleone zirabika nga ze zisinga okubeerako okuvuganya okw’amaanyi era abatunuulizi balaga nti ku zzo kwe kuyinza okuva oluwangula. Kyokka zino zivuganya ne Omukwano gunyuma olwa Samalie Namatovu ne Amelia olwa Hilderman.

Gye buvuddeko ssentebe wa PAM Awards Isaac Mulindwa bwe yalangirira ebiti bino, Eddie Kenzo yayomba olwa Sitamina okubula ku kiti ky’oluyimba lw’omwaka ate abalala nga bagamba nti Amelia terulina ttutumu lirussa mu kiti kino. Wabula Mulindwa yategeeza nti si ye yalonda wabula bayimbi bennyini, ba DJ, bannamawulire era nga kkampuni ya Ernest and Young ye yakung’aanya ebyo. 

Ebiti eby’amaanyi ebisinga bivuganyizibwako bakyala era ku luyimba lw’omwaka Samalie Matovu y’omu ku bakyala abasoose okuvuganya ku kiti ekyo okuva engule zino zitandika mu 2003 ate nga Juliana Kanyomozi eyawangula engule y’omuyimbi asinga mu 2008 era ye mukyala eyasooka okuzinwangula.

Abakyala abavuganya ku ky’omuyimbi w’omwaka kuliko Iryn Namubiru, Cindy, Grace Nakimera ne Juliana Kanyomozi. Abayimbi abali ku ky’abato mulimu Kenzo, Coco Finger, Samalie Matovu ne Eighton and Rain Man aba Kiwoko. Okuyingira e Lugogo 30,000/- ne 50,000/-.

Pam Awards za leero

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja