TOP

Bamukutte awambye omuyizi mu takisi

By Musasi Wa

Added 19th September 2010

Sandra Namubiru (10) asoma P5 mu Naggalama Boarding School yalayizza enduulu mu takisi e Kawempe ku Lwomukaaga ku ssaawa nga 2.00 ez’oku makya ng’alaba Sebyala Muwonge amulemeddeko amutwala.

Namubiru agamba nti yavudde awaka mu Ketifalawo zooni e Kawempe ku ssaawa 1.30 ez’oku makya nga nnyi

Sandra Namubiru (10) asoma P5 mu Naggalama Boarding School yalayizza enduulu mu takisi e Kawempe ku Lwomukaaga ku ssaawa nga 2.00 ez’oku makya ng’alaba Sebyala Muwonge amulemeddeko amutwala.

Namubiru agamba nti yavudde awaka mu Ketifalawo zooni e Kawempe ku ssaawa 1.30 ez’oku makya nga nnyina Fatuma Namatovu  amutumye okugenda okulaba Jjajjaawe amukolereko emirimu.

“Bwe nnatuuse mu kkubo, Sebyala  eyabadde anvaako emabega kwe kunnyweeza omukono. Nabadde nenerwanako nandaga 26,000/-  ze yabadde akutte mu ngalo era n’ansaba tugende naye ku dduuka  azivungise ampeeko 10,000/-. Nasoose kusikattira kyokka  n’ankanulira amaaso nga bw’agenda okuntusaako obulabe n’andagira okusirika. Yannyweezezza omukono  ne tutambula oluvannyuma n’ansaza  oluguudo. Yayimirizza takisi ne tulinnya ffembi kyokka mmotoka bwe yatuuse e Kawempe ku siteegi ne nfuluma abasaabaze abalala bayitewo.

Yandagidde nnyingire kyokka nnalabye takisi yeeyongerayo kwe kulaya enduulu ddereeva n’agiyimiriza.
Abasaabaze baakutte  Sebyala ne bamuwala ku poliisi y’e Kawempe.

Akulira bambega ba poliisi e Kawempe, Paul Mugisha yagambye nti okunoonyerezza kukyagenda mu maaso. Sebyala yagguddwaako omusango gw’okuwamba omuntu ku fayiro nnamba SD: 10/18/09/10.
  

Bamukutte awambye omuyizi mu takisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup