TOP

4 bakubiddwa obutayimbwa 2 ne bafa

By Musasi Wa

Added 16th September 2010

Abaafudde ye Francis Kubwirimana 20, akola mu Lufula mu Kampala  ng’abadde asula ku nju za Muky. Muduwa ne Mukiibi amanyiddwa nga Taata Maria omuvuzi wa loole. Ate abapooca e Mulago ye Aida Nabifo 28, akola mu wooteeri emu mu Kampala ne Joseph Irwata 49 nga musuubuzi.

Abantu bano bonna

Abaafudde ye Francis Kubwirimana 20, akola mu Lufula mu Kampala  ng’abadde asula ku nju za Muky. Muduwa ne Mukiibi amanyiddwa nga Taata Maria omuvuzi wa loole. Ate abapooca e Mulago ye Aida Nabifo 28, akola mu wooteeri emu mu Kampala ne Joseph Irwata 49 nga musuubuzi.

Abantu bano bonna abaakubiddwa batuuze mu Kireku zooni e Bweyogerere abatemu babasanze ku luguudo lw’eggaali y’omukka okumpi n’ekkanisa y’abalokole eyitibwa Full Time Prayer ku ssaawa 11.00 ez’oku nkya eggulo nga  bagenda okukola. Abatemu obwedda abantu bano babateega wansi mu kikko mu luguudo lw’eggaali y’omukka.

Akulira abakyala mu Kireku zooni Fatuma Nakaayi asangiddwa mu ddwaaliro e Mulago agambye nti ababiri baafudde nga bakatuusibwa mu ddwaaliro e Mulago .

Akulira ba mbega ku poliisi ye Bweyogerere, George Awaba yategeezezza nti obwedda buli gwe bamala okukuba nga bamwebasa wabbali oluvannyuma lw’okumuggyamu ssente n’essimu.  Poliisi yaguddewo omusango gw’obutemu ku fayiro nnamba SD20/16/09/2010.

Obubbi bw’obutayimbwa bubadde bucaase nnyo mu kitundu kino ng’okusooka bwa-li mu zoo ni y’e Kakajjo abantu babiri gye baakubwa obutayimbwa ne bafa mu wiiki emu.
Mu kiseera ky’ekimu munnamawulire wa Prime Radio abadde asoma amawulire g’oku makya yakubiddwa akatayimbwa e Mukono n’afiirawo.

Dickson Ssentongo yattiddwa ku kyalo Nantabulirirwa e Mukono ku ssaawa 12.00 ez’oku makya ku Lwokubiri bwe ya-badde agenda okusoma ama-wulire.

Okuttibwa kwa Ssento-ngo kwazze nga waakayita ennaku ssatu zokka ng’aba bodaboda e Rakai basse munnamawulire wa Top Radio, Paul Kiggundu eyabadde abakwata amaloboozi nga basaanyaawo ennyumba y’omutuuze.
     Â

4 bakubiddwa obutayimbwa 2 ne bafa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lionelmessifansmockcristianoronaldoafterargentinastarscoresagainsturuguay1206166 220x290

Messi n'era ayongedde okusiiwuuka...

Yateebedde Argentina ggoolo eyagiyambye okulemagana ne Uruguay (2-2) ku Mmande kyokka n’agugulana n’omuteebi wa...

Griezmannsad 220x290

Barcelona nzibu kuzannyiramu -...

Kyaddaaki Antoine Griezmann akkirizza nti Barcelona y’emu ku kiraabu ezisinga obuzibu okuzannyiramu omupiira.

Jose 220x290

Munnayuganda alidde obusumba e...

PAAPA alonze Munnayuganda Msgr Joseph Kizito okuba omusumba w’essaza lya Klezia ery’e Aliwal e South Afrika.

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...