TOP

‘Abali mu bwetaavu mubatonere ku bipya’

By Musasi wa Bukedde

Added 7th September 2010

Omusumba w’essaza lya Klezia Katolika ery’e Lugazi, Christopher Kakooza agambye nti si kirungi Abakristu okulondangayo ebintu ebikadde, oba ebitalina nnyo mugaso, ne babigabira abanaku, olwo ne balowooza nti basanyusizza Omukama.

Yagambye nti okutona okutuufu, Katonda kw’asiima, kubeeramu embeera ey’okwefiiriza, bw’atyo n’asaba Abakristu okulondangayo ebintu ebisinga obulungi, bye baba bagabira abaavu.

“Bw’oba osazeewo kugaba ngoye, genda mu dduuka ogule empya.

Bw’oba osazeewo kugaba bintu byakulya, genda mu ssupamaketi, oba mu katale, olondeyo ebyo ebisinga obulungi.

Omunaku bw’omutonera ekyo ekisingayo obubi, oba ebyokulya ebibi, ebiyinza n’okumulwaza, oba tosanyusizza Katonda.”

Omusumba obubaka bw’ekisiibo buno yabuweeredde mu ssomero lya Namilyango College, gye yasabidde abayizi baayo, nabo okubaako bye bagabira bannaabwe abali obubi.

“Munno bw’aba talina kitabo ate nga ggwe olina bingi, togaana kumugabirako kimu. Muzadde wo bw’aba yakuwa ssente za ‘pocket money’ ennyingi, munno atalina wadde ennusu tomuleka mu buyinike.

Muwe ku ssente ezo ennyingi ze baakuwa naye abeereko bye yeetuusaako,” Bp. Kakooza bwe yasabye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

Anyiize n’ayiira bba olweje

ABAFUMBO bafunye obutakkaanya omukazi n’ayiira bba olweje. Bino byabadde Nansana Nsumbi zooni, Shamim Nakafu bwe...

Unity 220x290

Mutabani wa Chamilli anyiga biwundu...

EDMOND Osutu omutuuze w’e Kyebando Nsooba agambibwa okuba omukozi mu bbaala ya DNA Lounge esangibwa ku luguudo...

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.