TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dizzo Manizo ekyeyo kikalubye n’adda ku butaka

Dizzo Manizo ekyeyo kikalubye n’adda ku butaka

By Musasi wa Bukedde

Added 7th September 2010

EKIMU ku bisoomooza abayimbi Bannayuganda abali ku kyeyo kwe kutumbula myuziki waabwe naddala wano ku butaka.

Eno y’ensonga lwaki Dizzo Manizo ng’amannya ge amatuufu Feisal Issa abadde abeera mu Amerika yasazeewo okudda ku butaka yeerwaneko.

Agamba nti waakomeddewo, abayimbi bangi be yali asinga bamuyiseeko.

Ono abasinga bamujjukirira ku luyimba ‘Nsamba football’ lwe yayimba n’aba Goodlyfe.

Agamba nti wadde ne Dallas mu Amerika gy’abadde abadde ayimba, myuziki abadde atambula kitono nga ne mu Uganda abadde tatuuka bulungi “Kati ye ssaawa Bannayuganda baddemu okunyumirwa ekitone kyange ng’omuyimbi era omuwandiisi w’ennyimba.

Mu Amerika njizeeyo bingi ebigenda okunnyamba okulinnyisa omutindo gwange mu bwangu...”Bwe yagambye.

Ono atandikidde ku lutambi lwe olupya lwatuumye Ngalabi okuli ennyimba z’omukwano eziwerako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu