TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana wa famire gye baawadde obutwa omulala afudde

Omwana wa famire gye baawadde obutwa omulala afudde

By Paddy Bukenya

Added 13th April 2019

OMWANA omulala owa famire gye baawadde obutwa afudde ate nga nnyina ne mukulu we baliko kikuba mukono.

Fuuka 703x422

Namubiru ng’asitudde Nampiima eyafudde eggulo.

Famire y’abantu bataano baagiteze obutwa, bbebi omu n’afiirawo era embeera eyongodde okwonooneka, omwana omulala Catherine Nampiima, ow’emyaka ebiri bw’afiiridde ku kitanda mu ddwaaliro e Nkozi gye baatwaliddwa nga bali bubi.

Nampiima yaddusiddwa e Nkozi ne mukulu we Vanessa Kisakye 12 ne nnyaabwe Nuru Namubiru 30, abatuuze be Teketwe mu ggombolola y’e Buwama mu Mpigi nga bali mu mbeera mbi nnyo oluvannyuma lw’okulya ebiteeberezebwa okuba obutwa. Kigambibwa nti obutwa buno babubateze mu nva zaabwe ez’ebinyebwa ze baalidde ekyeggulo.

Nampiima okufa kiddiridde okutwalibwa mu ddwaaliro ng’obutwa bwamubunye mu bitundu bye ebyomunda era abasawo baagenze okulwana obukenenulamu nga takyasobola kussa era abadde asizza ku byuma.

Akulira abasawo b’e Nkozi, Harriet Baker Nalwoga, yategeezezza nti Kisakye ne nnyina, Namubiru bakyali mu mbeera mbi wabula waliwo enkyukakyuka okusinziira ku mbeera mwe baabatwaliddeyo era bakyalwana okutaasa obulamu bwabwe.

Taata w’abaana bano Sikyomu Luyambi yagambye nti mukazi we emmere yagifumbidde mu nnyumba ng'avudde ku mulimu mu kabuga k’e Buwama ku mudaala gw’ennyaanya zaatunda.

Yategeezezza nti enva z’ebinyebwa ze yafumbidde ku mulimu emmanju nga kyandiba nga ze zaavuddeko emberebezi kubanga abaana olwabadde okuziryako ne batandikirawo okukaaba nga beenyoola.

Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Phillip Mukasa yagambye nti poliisi tennabaako gw’ekwata ku ttemu lino kyokka nga bakyanoonyereza omutemu eyakikoze nga bwe balinda n’ebiva mu kwekebejja emmere, obuugi n’omugaati ebyatwaliddwa e Mulago okwekebejjebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...