TOP

Bannamwandu ba Maiso owa Eagles bakyesomba

By Musasi Wa

Added 13th February 2012

OMUYIMBI Fred Maiso eyayimba “Ekimuli kya Rosa” afudde ng’alese abaana 8 nga bannamwandu bakategeerako bataano.

2012 2largeimg214 feb 2012 072220693 703x422

Bya Joseph Mutebi

OMUYIMBI Fred Maiso eyayimba “Ekimuli kya Rosa” afudde ng’alese abaana 8 nga bannamwandu bakategeerako bataano.

Maiso yafudde ku ssaawa nga 9:00 ogw’emisana ku Mmande  oluvannyuma lw’okumala ennaku bbiri ng’afunye amawulire nti munywanyi we Ephraim Kiyingi (Kadoma) gwe bali naye mu ddwaaliro lya Mirembe Clinic e Najjanankumbi yafudde.

Omugenzi Maiso yatwalibwa mu ddwaaliro n’akuulibwamu amannyo asatu omulundi gumu era wano kigambibwa we waatandikira obulwadde ekyawaliriza ababadde bamujjanjaba okumutwala mu ddwaaliro lya Mirembe gy’afiiridde.   

Mwannyina wa Maiso Sarah Kalukusu abadde ajjanjaba omulwadde yategeezezza Bukedde nti mwannyina    obulwadde bwamweyongedde ku Lwamukaaga oluvannyuma lw’omu ku mikwano gye okumunyumiza nti Kadoma gwe baali baasooka okuwa bombi ebitanda ku Mirembe Clinic  yabadde afudde ekyamukubye ewala.


Ssemakula ne mulekwa Derrick Maiso (ku kkono). Ekif: Joseph Mutebi

Embeera ye yatabuse bayimbi banne aba ‘Eagles’ ne bamutwalako ne mu ddwaaliro ly’e Namirembe gye bamuggye okumukomyawo ku Mirembe e Nnajjanankumbi we yafiiridde ssaawa 9:00 ogw’emisana eggulo.

Kalukusu agamba nti Maiso abadde akola gwa kumulaga baana wabula ng’abakazi babazaalamu tabamulaga.

Omulambo gwasuze ku National Theatre. Mesach Ssemakula  yategeezezza nti Maiso waakuziikibwa Petete mu disitulikiti y’e Pallisa leero essaawa 10.

Eby’okuziika byonna bigenda kukolebwako aba Uganda Funeral Services.

Bamulekwa Stella Maiso ne Derrick Maiso be babaddewo kitaabwe ng’afa.

 

Maiso owa Eagle Production afudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup