TOP

Bbaasi zitandike- Abantu

By Musasi Wa

Added 22nd February 2012

ABABAKA ba palamenti bawagidde pulojekiti ya bbaasi ezaaleteddwa okuwewula ku ntambula mu Kamnpala n’emiriraano egende mu maaso.

2012 2largeimg222 feb 2012 114913530 703x422

Bya Muwanga Kakooza

ABABAKA ba palamenti bawagidde pulojekiti ya bbaasi ezaaleteddwa okuwewula ku ntambula mu Kamnpala n’emiriraano egende mu maaso.

Ate enseko zaajuze okutta abalabi, ababaka ba palamenti bwe baagambye loodi meeya wa Kampala, Erias Lukwago n’akulira ekibuga Jeniffer Musisi okusikang’ana mu mikono oluvannyuma lw’okubalangira nti obutakkaanya bwabwe bwe buvuddeko okuzing’amya enzirukanya y’emirimu mu Kampala.

Muky. Musisi yagambye nti bbaasi  tezijja kutandika nga March 1 nga bwe kyasuubizibwa olw’ebizibu ebitali bimu ebizzeewo kyokka n’agamba nti KCCA egenda kukolagana n’aba Pioneer abaleeta bbaasi n’abalala abakwatibwako okulaba ng’entambula eno etandika mu bwangu.

Bino byabadde mu kakiiko ka palamenti aka Gavumenti z’ebitundu akakubiriziddwa Muky. Florence Kintu (Kalungu) ababaka bwe baalangidde Lukwago ne Musisi okuzing’amya emirimu gya Kampala omuli n’eby’okuleeta bbaasi nga bali mu kuneneng’ana.

Minisita w’oludda oluvuganya avunaanyizibwa ku gavumenti z’ebitundu Roland Mugume (Rukungiri) ye yabadde emmanduso y’okulangira Lukwago obutakolagana na Musisi n’agamba nti ‘’(meeya) Lukwago ne Musisi bonna balooya naye tebalabagana maaso ku maaso. Neewunya nnyo okulaba nga loodi meeya yajja wano n’agamba nti talabanga ku ndagaano ya Pioneer ne KCC (eyakolebwa mu 2010).Twagala bakwatagane zitunule  mu ndagaano ebintu bitambule’’.

Yawagiddwa ababaka abawerako okwabadde ne Muky. Florence Kintu eyagambye nti Lukwago ne Jeniffer balina okukolagana era babasuubira okukwataganako mu ngalo ng’okuteesa kuwedde. ‘‘Mumaleewo enkaayana pulojekiti ya bbaasi egende maaso’’ bwatyo bwe yagambye.

Omumyuka wa ssentebe w’akakiiko Rapheal Magyezi (Igara West)  naye yayongedde okubeezingako basikang’ane mu mikono. Ate  Roland Mugume naye n’addamu nti tajja kuvaawo nga tebatabaganye olwo kwe kugenda n’ayita Lukwago n’abayimirira wakati ne babagamba okusikangana mu mikono enseko ne zitta abalabi.

Mu lukiiko Jeniffer Musisi yagambye nti waliwo obuzibuzibu obukyalemesezza bbaasi okutandika kyokka bugenda kukolwako. Mu buno mulimu obuzibu obukyali mu ndagaano eno ne Pioneer eyaggwaako kyokka ng’esobola okutereezebwa enjuyi ezikwatibwako pulojekiti n’egenda mu maaso.

Yayongedde nti enguudo omuyitibwa bbaasi tezinnaba kumalibwa era ne siteegi awagenda okutuula abalinda bbaasi nazo zikyakolwako. Engendo bbaasi gye zirina okugenda nazo zikyakolebwako sso nga n’ebibuga ebyetoolodde Kampala nga Kira , Mukono, Nansana ne Wakiso nabyo ababikulembera beetaaga okuteesa nabo kuba nayo bbaasi zigenda kuyitayo.
 

Bbaasi zitandike- Abantu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera