TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab’e Kawaala beeraliikiridde okuzindibwa kkolera

Ab’e Kawaala beeraliikiridde okuzindibwa kkolera

By Musasi Wa

Added 9th March 2012

EMIDUMU gy’oluzzi egyazibikidde olwa kasasiro okusuulibwamu gitiisizza abatuuze b’e Kawaala mu Zooni 3, mu muluka gw’e Kasubi nti obudde bwonna bandigwamu ekirwadde kya kkolera olwa bannaabwe abasenako amazzi amacaafu.

2012 3largeimg209 mar 2012 100120640 703x422

Bya Godfrey Lukanga 

EMIDUMU gy’oluzzi egyazibikidde olwa kasasiro okusuulibwamu  gitiisizza abatuuze b’e Kawaala mu Zooni 3, mu muluka gw’e Kasubi nti obudde bwonna bandigwamu ekirwadde kya kkolera olwa bannaabwe abasenako amazzi amacaafu.

Kansala w’ekitundu ku Ggombolola e Lubaga, Eddie Wasajja Gulu, yagambye nti embeera eno yamuwalirizza okukunga abatuuze okukola  bulungibwansi okwerula oluzzi n’okugogola omwala ogutwala amazzi ogwazibikira ettaka n’ebisaaniiko ku Lwomukaaga nti kyokka ekyewuunyisa abatuuze tebajjumbidde ekyamuwalirizza okuteekako abantu okulugogola ne basasulwa  ssente.

Gulu yasabye  abatuuze abaazimba emyala egikulukutira mu luzzi okugikyusa ate n’abasuula ebisaaniiko mu luzzi ne mu myala bakikomye ng’agamba nti ze zimu ku nsonga ezivuddeko emidumu gy’oluzzi okuzibikira.  Yagambye nti taapu z’amazzi amayonjo kumpi teziriimu ekiwaliriza abatuuze okusena amazzi amacaafu agayinza okubalwaza kkolera.

“Tusaba ekitongole kya KCCA kikole amakubo agayita  mu kyalo munda kisobozese loole okutuuka ku batuuze okuyoola kasasiro. Kati abatuuze abasinga kasasiro bamansa mumanse  ne bamuyiwa ne mu myala ekivaako okuzibikira mu biseera by’enkuba,” Gulu bwe yategeezezza.

Ab’e Kawaala beeraliikiridde okuzindibwa kkolera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...