TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muka Bwanika omukulu atabuse bba okumulekera amabanja

Muka Bwanika omukulu atabuse bba okumulekera amabanja

By Musasi Wa

Added 8th July 2012

EYALI muka ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Matiya Lwanga Bwanika gwe yasuddewo ng’amaze okufuuka ssentebe wa disitulikiti, alumbye eyali bba eyamulekera amabanja ge beewola mu bbanka n’amusuulawo wadde nga bamaze emyaka 12 nga baagalana. Atottodde ennaku Bwanika gy’amuyisizzaamu:

2012 7largeimg208 jul 2012 090014580 703x422

Bya KIZITO MUSOKE

EYALI muka ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Matiya Lwanga Bwanika gwe yasuddewo ng’amaze okufuuka ssentebe wa disitulikiti, alumbye eyali bba eyamulekera amabanja ge beewola mu bbanka n’amusuulawo wadde nga bamaze emyaka 12 nga baagalana. Atottodde ennaku Bwanika gy’amuyisizzaamu:

“Nze Sarah Nansikombi (44), nga ntunda byamasannyalaze mu Kiyembe mu Kampala. Nalabagana ne Matia Lwanga Bwanika mu 2000, era ne tusiimagana nga namusanga talina mukazi, wadde yalina abaana be yazaala edda.

Bwanika twakkaanya n’aleeta abaana be mu maka gaffe. Nasobola okukozesa ssente zange ze nakung’aanya ne nneezimbira enju ku ttaka lye nasikira okuva ku kitange.

Era wano Bwanika w’abadde asula. Abaana be yabaleeta nze mbakuzizza, kuba baali bawulize nga tebalina buzibu. Nze Mukama teyansobozesa kumuzaalira.

Yatandika okwesimbawo mu byobufuzi mu 2006, bwe yavuganya ku bwassentebe bwa Wakiso, era ewange ye yali enkambi. Wadde yagwa ssente zange zaagenderamu nnyingi.

Bwe twalaba ng’embeera mbi, nasalawo okusinga ekyapa ky’ennyumba yange mu banka, ne bampola ssente ne ntandika bizinensi y’okutunda ebyamasannyalaze mu Kiyembe, kyokka ne mmuteekamu, tusobole okukola fenna, wadde nga yo ewandiikiddwa mu mannya gange bw’omu.

Nagituuma erinnya lya Saranika Enterprises nga ngatta erinnya lyange erya Sarah ne Bwanika. Mu kulonda kwa 2011 ng’azzeemu okwesimbawo, edduuka lyange y’ebadde ofiisi ye mu kibuga.

BWANIKA ATANDIKA OKUKYUKA
Oluvannyuma nga ssebo amaze okulondebwa ku bwassentebe, yatandiikiriza mpola obutadda waka, abaana yatandika obutabawa buyambi era nga nange buli lwe mmugambako ampisa ng’ekyonziira.

Nalaba kiyitiridde ensonga ne nziyingizaamu mwannyinaze Dick Kabali, eyamuyita enfunda eziwerako ng’ayagala basisinkane, kyokka Bwanika yamugambanga kimu nti talina budde akola nnyo.

Mwannyinaze yatuuka n’okumugamba bwe kibeera kisoboka basisinkane ekiro ng’annyuse kyokka omwami yagaanira ddala.

Lumu ng’enda okuva ku dduuka okukola okudda ewaka, ng’aggyeemu ebintu bye mu nju.

Okuva mu mwezi gwa August taddangamu kulinnya kigere waka, kyokka bo abaana weebali.

Mu kiseera we yagendera, yandeka edduuka akimanyi nti ssente zonna ezirimu za bbanja, ate nga ne nannyini kizimbe atubanja.

Ye bwe yalaba ng’agudde mu ssente yadduka buddusi, nze n’andeka mu nnaku, kyokka nagenda nsondereza ssente ez’enju ne nzimalayo, wadde ddyo ebbanja terinaggwaayo.

NGEZAAKO OKUTAASA OBUFUMBO BWAFFE
Nasisinkana bannaddiini abamutwala, kyokka nga bang’umya nti ngira mmulindako bijja kumwonoonera akalulu ke. Ensonga zino nazituusaako n’ew’Omulabirizi Kityo Luwalira, kuba ndi Mukristaayo era saafuna buyambi.

Natuukirirako abantu abawerako e Mengo, kyokka bantegeeza kimu nti bijja kumukosa mu kalulu ke, era mu kiseera kino bantegeeza nti mmulinde ekisanja kye kino kimale okuggwaako kuba bijja kumukola bubi, kyokka nga bansuubiza okumugambako.

Olumu neesitula ne ng’enda mu kitongole ekirwanirira eddembe ly’obuntu ne nsisinkana akikulira, Livingstone Sewannyana ne mmunnyonnyola engeri musajja we alwanirira eddembe ly’obuntu gy’alinnyirira eddembe lya banne.

Yantegeeza nga bw’ajja okumulaba. Ne kati kikyanneewuunyisa okulaba nga Bwanika asembera ku mmeeza Entukuvu kyokka ng’akimanyi nti alina abantu b’atulugunya,” Nansikombi bw’annyonyola.

MWANNYINA WA NANSIKOMBI BY’AGAMBA
Yinginiya Dick Kabali agamba: Oluvannyuma lw’okulaba nga Bwanika aliisa mwannyinaze akakanja, namusaba tusisinkane tusobole okumalawo obutakkaanya.

Nze okuwasa kwa Bwanika tekyandibadde kizibu kuba kino abasajja bangi bakikola ayinza okuba nga yalaba nga mukyala we takyamusaanira.

Bwanika muzibu, yaleka mwannyinaze ng’amulekedde abaana be. Bizinensi yagireka eri mu looni nga n’edduuka balibanja.

Bukedde yasobodde okutuukako mu maka ga Nansikombi agasangibwa e Mengo era n’asangayo abaana ba Bwanika okwabadde omulenzi Dennis Bwanika eyategeezezza nti ddala kituufu Matia Lwanga Bwanika y’amuzaala, kyokka nga mu kiseera kino ali mu luwummula lwa S.6.

BWANIKA AZZIZZA OMULIRO
Ssentebe w’e Wakiso, Matiya Lwanga Bwanika bwe yatuukiriddwa ku ssimu yeegaanyi ebigambo byonna ebyogerwa Nansikombi, n’ategeeza nti kituufu yali mukazi we ne baawuukana, kyokka nga by’ayogera bya bulimba anoonya kumwonoonera linnya.

“Oyo omukyala akozesebwa bukozesebwa bannabyabufuzi abannwanyisa okulaba nga bansuula, omanyi omuntu gy’okoma okulinnya n’abakulwanyisa gye bakoma okubeera abangi.

Omukyala oyo by’antuusizzaako, n’obwavu bwe yankuba olwa ssente zange ennyingi ze yantwalako, mpulira nga njagala na kukaaba.

Waliwo abantu abamuli emabega abagenderera okwonoona erinnya lyange nga bansibako amatu g’embuzi okundiisa engo”.

Muka Bwanika omukulu atabuse bba okumulekera amabanja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’