TOP

Asaze muganziwe n’amuyiwa ebyenda

By Musasi Wa

Added 8th July 2012

OMUVUBUKA avudde mu mbeera n’asanjaga muganziwe ebiso n’amuyiwa ebyenda n’afa ng’agamba nti yamukyaaye kyokka ng’amaze okumupangisiza ennyumba. Yamulesezza omwana wa myaka esatu.

2012 7largeimg208 jul 2012 091132987 703x422

Bya SARAH ZAWEDDE

OMUVUBUKA avudde mu mbeera n’asanjaga muganziwe ebiso n’amuyiwa ebyenda n’afa ng’agamba nti yamukyaaye kyokka ng’amaze okumupangisiza ennyumba. Yamulesezza omwana wa myaka esatu.

Peace Nalwadda (25) ye yasaliddwa ng’embuzi, bba Edrin Tinkasimire n’amuyuza olubuto ebyenda ne biyiika. Yamusazesaze emimwa, ensingo n’amutema emikono n’amufumita mu kifuba ekiso n’akimulekamu era poliisi ye yakimuggyeemu .

Obutemu buno bwabaddewo ku ssaawa nga 2.30 ez’ekiro ku Lwokuna mu Kiyindi Zooni e Bwaise nga we baamuttidde kiri miita nga 100 okuva ku poliisi y’e Kawempe.

Tinkasimire yalese Nalwadda mu kitaba ky’omusaayi ku mufaaliso wansi w’abadde asula mu muzigo era abadduukirize baabadde baakatuuka n’afa.

“Olwamaze okumutta Tinkasimire yafulumye ennyumba nga bwe yeewaana nti mmumaze. Yabadde aggyeemu essaati nga yenna abunye omusaayi.

Yasalinkirizza mu kakubo akatono n’adduka.” Latifah Nanyiti omu ku baasangirizza Tinkasimire ng’adduka bwe yagambye. Omuzigo kwe battidde Nalwadda gwetooloddwa ab’emiriraano kyokka bonna tebabaddewo.

Tinkasimire abadde akola gwa kusaawa mu luggya lw’omugagga, Patrick Tumwine mu Sempa Zooni eriraanaganye awaabadde obutemu buno ng’ abadde yaakakolayo emyezi mwenda.

Nalwadda abadde aweereza mmere mu katale e Bwaise ng’alese omwana omuwala, Trace Atwine (3) asoma nasale mu ‘African Child’ e Kawempe.

Nannyini mayumba Nalwadda kw’abadde asula, Dirisa Ssebuufu agamba, “Entabwe yavudde ku 90,000/- Tinkasimire ze yawadde Nalwadda apangise ennyumba bafuuke abafumbo nga basulamu bombi.

Kyokka Nalwadda olwapangisizza ennyumba emyezi esatu ate n’agobaganya Tinkasimire kwe kumutabukira n’agamba Nalwadda amuddize ssente ze bwe byalemaganye kwe kumutemula’.

Agattako, ‘Tinkasimire yabadde ayagala okweddiza muzigo Nalwadda gwe yasasulidde kyokka n’amulabula obutakikola kuba Nalwadda ye yankwasizza ssente. Tinkasimire teyamatidde era yagenze nga yeemulugunya nti wakukozesa amagezi amalala’.

Ssebuufu yayongedeko nti ensonga zino zaatiisizza Nalwadda ensonga n’azitwala ku LC mu Sempa Zooni
Tinkasimire gy’abadde asula ng’agamba nti yabadde ayagala kumutta.

Ssentebe wa Sempa Zooni, Sulayiman Kibirango yagambye, “Nalwadda yazze n’andoopera ensonga zino era ne tukubira Tinkasimire essimu ajje bazigonjoole kyokka n’atagikwata. Nalwadda yazzeeyo ewuwe n’asuubiza ensonga okuzongerayo ku poliisi enkeera.

Kyokka yalese atuwadde nnamba z’abantu be. Ekyaddiridde kuwulira nti attiddwa.” Mukwano gwa Nalwadda, Annet Namiiro bwe babadde basula agamba, “Nalwadda yali aweereza mu bbala kyokka nannyiniyo n’asenguka n’adda e Kawempe.

Nalwadda yantuukirira mu kibanda ky’amanda we nkolera n’anneegayirira mmusuze kubanga yali talina buyambi kyokka ng’alina omwana.

Nakkirizza era tubadde twakamala naye emyezi esatu nga simulinako buzibu. Abadde akung’aanyizzaawo ssente ng’ayagala kwepangisiza n’okugula omufaaliso asenguke ku Lwomukaaga. We bamuttidde nabadde ngeze kutwalira mukama wange ssente e Kazo”.

Abeng’anda za Nalwadda baatadde omusaayi gw’omugenzi mu sseppiki ne bagufumba ku ekyakumiddwa mu luggya nga banonooza nti kino kijja kulemesa Tinkasimire okudduka akwatibwe.

Akulira poliisi y’e Kawempe, Siraje Bakaleke yasabye alabye Tinkasimire atemye ku poliisi emukwate. Tinkasimire yagguddwaako omusango gw’obutemu ku fayiro nnamba CRB 2318/12.

Asaze muganziwe n’amuyiwa ebyenda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata

Mufunire 220x290

Ab'obuzito balaze ttalanta

Abasituzi b’obuzito balaze talanta mu mpaka za Kisugu Open Bonanza ezigguddewo kalenda ya 2020 nga zeetabiddwamu...

Git1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata