TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bad Black: Omuwala aggyayo ekifaananyi kya Bannayuganda abasinga obungi

Bad Black: Omuwala aggyayo ekifaananyi kya Bannayuganda abasinga obungi

By Herbert Musoke

Added 16th July 2012

OMUWALA Bad Black yeegulidde erinnya mu Uganda! Si lwa mpisa ze ennungi eziwa abaana abato ekyokulabirako, wabula lwa ngeri gye yasobola okuwuddiisaamu Omuzungu David Greenhalgh , n’amunyakulako obuwumbi bwa ssente 11 be ddu!

2012 7largeimg216 jul 2012 105243377 703x422

Bya HERBERT MUSOKE

OMUWALA Bad Black yeegulidde erinnya mu Uganda! Si lwa mpisa ze ennungi eziwa abaana abato ekyokulabirako, wabula lwa ngeri gye yasobola okuwuddiisaamu Omuzungu David Greenhalgh , n’amunyakulako obuwumbi bwa ssente 11 be ddu!

Kale buli lw’abadde ayingira mu bbaala oba ekifo kyonna ekisanyukirwamu n’alaga kaasi ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri, n’alina eddiini ennyo mu Uganda nga yeegomba okubaako mu bulamu ‘obulungi’ ng’obwa Black, obumuguza by’ataalye!

Eno y’ensonga lwaki abamu baayozezza ku mmunye wiiki ewedde ng’omulamuzi Catherine Bamugemerire owa kkooti ewozesa abali b’enguzi n’abakenuzi amukalize emyaka ena mu kkomera olw’okulagajjalira ssente z’Omuzungu n’aziyiwaayiwa atyo!

Naye bw’oba osekerera Bad Black ne muganzi we Meddie Ssentongo olw’okujaajaamya ssente z’Omuzungu kimanye nti naawe mu kkooti baakutwaliddemu! Kuba ababiri bano baggyayo bulungi enneeyisa n’endowooza ya Bannayuganda bangi.

Ffenna tuli beejaasi, tuyiwaayisa ssente ze tutalina, era tugulumiza nnyo abo abafunye ez’amangu k’abe ng’abbye nzibe oba ng’afumbye mutwe okuzifuna!

Jackson Muyanja ow’e Nansana yang’ambye nti omwaka guno, Bad Black ye muzira we kubanga ssente ze yabbye za Muzungu, muzzukulu w’abo abajja mu Afrika emyaka mingi egiyise ne babba ebyobugagga byaffe ne bakuuna nabyo!

Abalina endowooza eno bangi, era be bamu ku beeyiwa ku kisaawe e Ntebe okwaniriza Sseya Hajji Nasser Sebaggala mu 1999 ng’akomyewo kuno okuva mu kkomera mu Amerika gye baali bamusibidde olw’okugaba ebicupuli n’awuddiisa Abazungu.

Mwattu Sebaggala yeenyumiriza nnyo mu kumusibira mu Amerika, era awulirwa ntakera ng’asekerera Bannayuganda abamujeeja olw’ebicupuli bye yagabanga, nti ye yali agezaako kuzza ku ssente Abazungu ze baatubbako. Era olw’okumusiima ennyo mu Uganda, twaddamu okumulonda ku bwameeya, ne tumuwa n’ekifo mu Gavumenti ayongere okuwa ekyokulabirako ekirungi!

Nnaalongo Specioza Nabuuma ow’e Nalukolongo yeewuunya nti ssente Bad Black ze yabba zaawukana zitya n’ez’abakungu ba Gavumenti ze babba ku muwi w’omusolo!

“Ekirungi ku Black nti ze yabba azisaasaanyiriza mu Uganda, bakama baffe mu Gavumenti bazikukulira mu nsi ndala oba okuzissa wansi w’ebitanda ne tufuna ebizibu ebingi,” bwe yang’ambye!

Bannayuganda kye banenya Black ne muninkini we Meddie si kubba ku Muzungu, wabula butakozesa bulungi ssente ezo! 

Bad Black: Omuwala aggyayo ekifaananyi kya Bannayuganda abasinga obungi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rape2 220x290

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku...

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga...

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...