TOP

Kkooti y’ekyalo esalidde 5 ogw’okufa

By Musasi Wa

Added 2nd September 2012

ABATUUZE batuuzizza kkooti y’ekyalo ne basalira famire y’abantu bataano ekibonerezo kya kufa nga babalumiriza okutta mutuuze munnaabwe.

2012 9largeimg202 sep 2012 100546070 703x422

Bya SAUL WOKULIRA
ABATUUZE batuuzizza kkooti y’ekyalo ne basalira famire y’abantu bataano ekibonerezo kya kufa nga babalumiriza okutta mutuuze munnaabwe.

Bino bibadde ku kyalo Nakakonge mu ggombolola y’e Nazigo mu disitulikiti y’e Kayunga ku Lwokutaano.
Abatuuze baatudde mu lukiiko lw’e Kyalo ne balumiriza Tom Kafuko, batabani be ssaako muwalawe nti be basse mutuuze munnaabwe Siriiri Nyombi.

Kino kiddiridde Nyombi okufa mu ngeri etaategeerekese omulambo gwe ne gusangibwa mu lusuku lwa Kafuko nga gujjudde enkwagulo mu bulago ekiraga nti yandiba nga yatugiddwa butugibwa.

Abatuuze baalumirizza Nyombi nti, eggulo limu yabadde ne Kafuko ne batabani be nga banywa omwenge era okuva awo bazzeemu okumulaba nga mufu era ng’omulambo gwe guli mu lusuku lwa Kafuko.

Grace Katooko owa LC e Nakakonge yategeezezza nti, bwe baabadde mu lukiiko lw’ekyalo omutuuze omu n’ateesa nti, Kafuko ne batabani be battibwe nabo bawulire ku bulumi munnaabwe mwe yafiiridde awo abatuuze kwe kukiwagira ne bataama.

Nyombi eyattiddwa nga bweyabadde afaanana.

Baasikambudde muwala wa Kafuko ayitibwa Harimah Mukebezi Teopista Byogero mukyala wa Kafuko ne batandika okubakuba wabula abazirakisa ne babaddusa.

Ebimu ku bintu by’omu nju ya Kafuko ebyayonooneddwa.

Mu kiseera kino, Kafuko ne batabani be Ronald Kaluganda ne Godfrey Kiirya baabadde badduka ng’ebbiina ly’abatuuze libagoba kyokka ne babulira mu bisenyi gye baasalikirizza okutuuka ku poliisi gye beekukumye.

Abatuuze obusungu baabumalidde ku nnyumba za bano ze baakonye ne zigwa ku ttaka n’oluvannyuma ne bazookya.

Ebintu by’omu nju okwabadde amasowani baabyasizza ate engoye n’ebirala ne babikumako omuliro.
Ebisolo okwabadde ente, enkoko, embuzi n’embizzi byonna baabibaaze ne babigabana era tebaaleseewo wadde eddiba.

Shaba Kayemba ne Teopista Byogero.

Ssentebe w’eggombolola y’e Nazigo Shaban Kayemba yagambye nti abatuuze bayitirizza okutwalira amateeka mu ngalo n’asaba poliisi bonna ebakwate bavunaanibwe.

Kafuko nga ali ku poliisi yeesammudde okutta Nyombi era nti ne batabani be tebalina kye bamanyi babalanga bwemage. “Okusanga omulambo mu kibanja kyaffe tekitegeeza nti ffe twasse omuntu oyo.” Kafuko bwe yagambye.

Akulira bambega ba poliisi mu disitulikiti y’e Kayunga Gally Turyatunga yagambye nti lipoota y’abasawo yakakasizza nti, Nyombi yafudde ttamiiro era abaakoze effujjo bagenda kubakwata n’alabula abatuuze okukomya effujjo nga bwe baakoze.

Godfrye Kiirya ne  muzeeyi Tom Kafuko.

Harima Mukebezi n'owa LC mukyala Grace Katooko ,Ebif byonna bya Saul Wokulira.
 

Kkooti y’ekyalo esalidde 5 ogw’okufa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...

Dpp 220x290

Omuwaabi wa Gavt. awadde ebiragiro...

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu Mike Chibita asiimye okunoonyereza okwakoleddwa ttiimu ya Vision Group omuli ne Bukedde...

Teddybugingoaloysius 220x290

Enkambi ya Teddy evuddeyo ku by'obugagga...

ENKAMBI ya mukyala wa Bugingo ow’empeta Teddy Naluswa Bugingo etangaazizza nti, Teddy takkaanyangako kugabana byabugagga...