TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bamalaaya e Katwe bakunamidde abapoliisi ababadde babakwata

Bamalaaya e Katwe bakunamidde abapoliisi ababadde babakwata

By Musasi Wa

Added 4th September 2012

ABAKAZI abaakwatiddwa poliisi y’e Katwe nga kigambibwa nti batunzi ba kaboozi k’ekikulu, bawemudde abapoliisi n’okubavumaavuma olw’okubalesa amabujje gaabwe ge babadde banoonyeza ssente ez’okubagulira amata.

2012 9largeimg204 sep 2012 171053820 703x422

Bya Henry Ssennyondo

ABAKAZI abaakwatiddwa poliisi y’e Katwe nga kigambibwa nti batunzi ba kaboozi k’ekikulu, bawemudde abapoliisi n’okubavumaavuma olw’okubalesa amabujje gaabwe ge babadde banoonyeza ssente ez’okubagulira amata.

Baaweze nti amangu ddala nga bamaze okuweebwa ebibonerezo ne babikola, baakuddayo mu bifo mwe baabakwatidde batandikire we baakoma beerenge kubanga tebalaba musango gubakwasa nga batunda byabwe ebitaliiko abanja.

“Kiki mutumanyiira obwenkanidde awo? Eno bizinensi mwe mugiteekamu kkaasi?” Omu ku bawala bano bwe yeekalakaasizza ng’alinyisibwa kiroole kya poliisi mu ttuntu eggulo Olwokubiri. Kuno obwedda bagattako n’okubakunamira n’okubawereekereza agagambo aganene.

Mu bantu 30 abaayoleddwa, kwabaddeko abakazi 22 okwabadde Scovia Komukama obwedda gwe bayita “ssenga” waabwe n’omuyizi Benita Nassanga asoma ssiniya eyookusatu e Mukono.


ABAMU ku bamalaaya abayooleddwa mu bifo mwe beetundira omuli Ndeeba, ku Dancers Club n'e Makindye okumpi n'enkambi ya poliisi y'amagye. Bayooleddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa poliisi y'e Katwe.


Wano nga beebalama kkamera za Bukedde

Ekikwekweto kino kyayindidde mu bifo ebyenjawulo omwabadde mu Ndeeba okumpi ne wooteeri ya Kings Motel, okumpi n’ekifo ekisanyukirwamu ekya Dancers Club e Kibuye kulw’e Salaama n’e Makindye okuliraana enkambi ya poliisi y’amagye.

DPC wa poliisi y’e Katwe (SP) Richard Ecega yategeezezza nti mulimu abakwatiddwa n’emisokoto gy’enjaga mu busawo bwe bgatambuliza ku migongo n’endala ey’obusigo n’ebikoola eyabadde tenazingibwa.

Wano nga beebalama kkamera za Bukedde


SCOVIA Komukama obwedda gwe bayita "ssenga" wa bamalaaya nga naye alinyisibwa ku kiroole okutwalibwa mu kkooti. Bayooleddwa mu bifo ebyenjawulo mu Ndeeba, Kibuye nga ku kifo ekisanyukirwamu ekya Dancers Club n'e Makindye.

Ecega yagambye nti balina n’abavubuka abaakwatiddwa nabo nga bali mu bifo bye bimu bamalaaya bano mwe babadde beetundira.

Abaakwatiddwa: Fiona Nantume, Rith Nansereko, Irene Kamujuni, Isabella Tumuhirwe, Ruth Kobusingye, Proscovia Nakyanzi, Agnes Nassuuna, Shira Namatovu, Najjumba, Harriet Nansubuga, Ramamula Nakimwero, Christine Nabakooza, Juliet Nassozi, Agnes Nalubowa, Rashida Nakyanzi, Sharifa Nantale, Fatuma Namuli, Vincent Kisekka, Nicholas Mugisha, Florence Nayiga, Asiat Nazziwa, Benita Nassanga omuyisiScovia Komukama “ssenga wa bamalaaya”.
Abalenzi: Ronald Bukenya, Hassan Wasswa, George Kawalya, Patrick Mpata, Ali Masa, Devis Lule, Ivan Nuwamanya, Frank Luyimbazi.


ABAMU ku bamalaaya abayooleddwa mu bifo mwe beetundira omuli Ndeeba, ku Dancers Club n'e Makindye okumpi n'enkambi ya poliisi y'amagye.

Benita Nassanga (19) omuyizi wa S.3 e Kabuga Mukono: Yakwatiddwa mu kikwekweto ky'okufuuza bamalaaya ekyakoleddwa mu Ndeeba, Kibuye n'e Makindye. Ebifaananyi byonna bya Henry Ssennyondo

Ofiisa eyeenyigidde mu kikwekweto kino Cpl. Fred Anywar yategeezezza nti abantu bano babadde bakola obwamalaaya ng’ate beenyigira mu bikolwa by’okunyaga abantu n’okubasikambulako ebintu byabwe. Fayiro eyabagguddwako eri nnamba CRB4348/2012.

Bamalaaya e Katwe bakunamidde abapoliisi ababadde babakwata

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi