TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyabbye amayuuni agende alye enkoko ye! Ayise ku lugwanyu okufa

Eyabbye amayuuni agende alye enkoko ye! Ayise ku lugwanyu okufa

By Musasi Wa

Added 5th November 2012

OMUSAJJA gwe baakwatidde mu musiri gw’amayuuni g’oku Klezia y’Abakatoliki e Kyamula-Salaama, abatuuze baamugudde ekiyiifuyiifu omugole ky’agwa ku ncaaca za bba ne bamukuba emiggo katono bamumize omusu.

2012 11largeimg205 nov 2012 085204550 703x422

Bya Henry Ssennyondo

OMUSAJJA gwe baakwatidde mu musiri gw’amayuuni g’oku Klezia y’Abakatoliki e Kyamula-Salaama, abatuuze baamugudde ekiyiifuyiifu omugole ky’agwa ku ncaaca za bba ne bamukuba emiggo katono bamumize omusu.

Poliisi y’e Salaama okwabadde ofiisa (C/ASP) Rebecca Ayet, (AIP) Musinguzi be baataasizza Ismail Ssekyanzi okuttibwa mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga. Baamukubye ne bamutuusaako embale ku mutwe n'ebitundu by'omubiri n'atonya omusaayi.

Amayuuni agaabadde gamussa, yabadde agasima mu lutobazi oluli ku Klezia ya St. Ponsiano e Kyamula. Yabadde n’akakutiya omw’okugassa ng’alina n’ekitereje ky’enjaga ey’obusigo eweramu kiro nga ssatu.

Bwe yabuuzizza gye yabadde agatwala, Ssekyanzi yagambye nti alina bakaasitoma be ewa Kuleekaana kulw’e Salaama gy’abaddenga agatwala nga bamusasulirawo ssente.

“Bakaasitoma bange babadde baagala nnyo amayuuni ng’ate okugatuusa bampeerawo ssente tebandwisa” Ssekyanzi bwe yategeezezza mu maaso g’abasirikale ba poliisi e Salaama.

Ow’ebyokwerinda mu Ttakajjunge-Kyamula, Stephen Kafeero yategeezezza nti zaabadde ssaawa nga 11:00 ez’ekiro obudde nga bunaatera okusasaana we baakwatidde Ssekyanzi n’enkumbi n’amayuuni bye yatwaliddwa nabyo ku poliisi ng’ebizibiti.

Eyabbye amayuuni agende alye enkoko ye! Ayise ku lugwanyu okufa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza