TOP

Amabeere ga Black bagalongoosezza

By Musasi Wa

Added 5th January 2013

Bad Black; bamulongoosezza amabeere naddamu okulya obulamu

2013 1largeimg205 jan 2013 110622740 703x422

Bya MARTIN NDIJJO


MWANAMUWALA Bad Black bamulongoosezza amabeere g’abadde agamba nti gamaze ekiseera nga gamuluma n’ategeeza nti wadde tannassuuka bulungi wabula azzeemu okulya obulamu e Dubai gye baamujjanjabidde.

Black yategeezezza ku ssimu nti bwe yagenze e Dubai yatuukidde mu ddwaaliro lyerimu mwe baamutwala nga bamugezza amabeere eriyitibwa American British Surgical & Medical Centre (ABSAMC) n’akwatagana ne Dr. Amo Muhamdi.

Dr. Muhamdi ye yakola ku by’okugezza amabeere ga Black era ye yakoze ku by’okugalongoosa ku mulundi guno okwakoleddwa ku nkomerero ya wiiki ewedde. Black bwe yamaze okulongoosebwa n’awandiika obubaka ku mukutu gwe ogwa Facebook nga yeebaza Katonda olw’ebyo byonna by’amuyisizzaamu mu mwaka 2012 era ng’ayagaliza abawagizi be bonna omwaka omuggya ogw’emirembe.

Wabula yasoomoozezza abamwogerera obubi bwe yawandiise nti, “Ntumira babigambo pipo mwenna mukola kya maanyi nnyo nnyo okufa ku bitabakwatako!” Black yategeezezza nti wadde tannaba kussuuka bulungi, yatandise okugendako mu bifo ebimu ebisanyukirwamu e Dubai okwemalako ekiwuubaalo.

Yagambye nti yasaasaanyizza obukadde obusukka mu 60 ku by’okulongoosebwa, entambula n’okulabirirwa kwe yaakamalako wiiki ezisukka mu bbiri.

Munnamateeka we, Henry Kisaalu yakakasizza ekya Black okulongoosebwa era n’agamba nti amusuubira okudda mu bwangu kubanga alina okweyanjula mu kkooti ku Lwokutaano luno nga bwe yalagirwa Omulamuzi.

Black yeeyimirirwa ku kakalu ka bukadde 100 ez’obuliwo n’akkirizibwa okugenda ebweru w’eggwanga  okulongoosebwa amabeere agaali gaapikibwa kyokka ng’agamba nti gaali gamutabukidde ng’ali mu kkomera e Luzira gye yali aggaliddwa emyaka ena ku misango gy’okwezibika obuwumbi 11 okuva mu kampuni y’Omuzungu David Greenhalgh.

 

 

Black ng'alya obulamu gye buvuddeko.

Amabeere ga Black bagalongoosezza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...