TOP

Omusumba akwatiddwa lwa kusigula mukazi

By Musasi Wa

Added 10th January 2013

POLIISI ekutte Pasita w’Abalokole ng’emulanga kusigula muk’omusajja eyagattibwa empeta n’amutwala mu makaage.

2013 1largeimg210 jan 2013 091912260 703x422

Bya ERIA LUYIMBAZI

POLIISI ekutte Pasita w’Abalokole ng’emulanga kusigula muk’omusajja eyagattibwa empeta n’amutwala mu makaage.

Pasita Amos Betungula ow’ekkanisa ya Reconciling Gospel Ministries eri ku luguudo lwa Butikiro e Mengo ye yakwatiddwa poliisi wa Old Kampala olw’okusigula omukazi Peace Kiconco eyafumbirwa Reuben Mwebesa mu bufumbo obutukuvu. okumukwata poliisi yamujje mu nnyumba mw’asula e Bunnamwaya - Ngobe.

Reuben Mwebesa gwe basiguddeko omukazi nga mutuuze w’e Gganda mu Wakiso yagambye nti yagattibwa ne Peace Kiconco nga December 1, 2009 mu kkanisa y’Abadiventi e Najjanankumbi era nga babadde balina abaana babiri.

Yagambye nti Kiconco yatandika okugenda mu kkanisa ya Betungula emyezi mukaaga egiyise n’atandika okwenyigira mu kusaba okw’ekiro nga wano embeera ze wezatandikira okukyuka n’obutamusaamu kitiibwa.

“Twagatibwa ne mukyala wange mu bufumbo obutukuvu wabula n’atandika okugenda mu Balokole eno gye nafunidde amawulire nti waliwo Pasita ayagala okumuwasa kwe kubinoonyerezako okutuusa lwefunye amazima,” Mwebesa bwe yagambye.

Yagambye nti nga wayise akaseera Kiconco yamutegeza nga pasita bw’amuwadde ennyumba ey’okubeeramu ku kkanisa asobole okumutendeka naye afuuke Omusumba era n’asiba ebintu by’omu nnyumba n’abitwala ewa Betungula.

Yagambye nti kino kyavumiriddeko okugenda ku poliisi ya Old Kampala n’aggulawo omusango ku fayiro SD: 29/06/01/2013 ssaako n’okumuyambako okununula ebimu ku bintu bye Kiconco bye yasiba n’atwala ewa Betungula nga bino poliisi yagenze n’ebiggyayo.

Wabula ye Betungula yagambye nti Kiconco ye mukyala gw’agenda okuwasa kuba yamubulira nga bw’atalina musajja yenna yadde yazaala abaana basatu.

Kiconco yagambye nti okugattibwa ne Mwebesa yali amukozesa okugezaako okufuna ebbaluwa y’obufumbo emusobozese okuwandiisa pulojekiti ye nga bwe byaggwa n’omukwano ne guggwawo era n’omu ku baana si wuwe era nga byonna abimanyi.

Reuben Mwebesa

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ya Old Kampala, Proscovia Namukasa yategeezezza nga bwe bali mu kunoonyereza ku nsonga eno n’okwetegereza satifikeeti y’obufumbo bwa Mwebesa.


Abasajja nga bafulumya ebintu mu nju y'omusumba Betungula, ebigambibwa nti Kiconco yabiggya wa bba Reuben Mwebesa.

Ekkanisa y'omusumba Amos Betungula esangibwa ku luguudo lwa Butikkiro.Ebifaananyi byonna bya Eria Luyimbazi.

 

Omusumba akwatiddwa lwa kusigula mukazi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...