TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga eyatomeddwa mukaziwe alese ebyobugagga bya buwumbi

Omugagga eyatomeddwa mukaziwe alese ebyobugagga bya buwumbi

By Musasi Wa

Added 14th January 2013

OMUGAGGA w’omu Kampala, mukazi we gwe yatomedde n’afa amulesezza ebyobugagga ebibaliriwa mu buwumbi.

2013 1largeimg214 jan 2013 143611377 703x422

Bya Hannington Nkalubo

OMUGAGGA w’omu Kampala, mukazi we gwe yatomedde n’afa amulesezza ebyobugagga ebibaliriwa mu buwumbi.

Juvenal Nsenga abadde omusuubuzi ow’omaanyi mu Kampala, ng’essira yalissa ku kutambuza byamaguzi, mukazi we Jackline Nsenga yamutomedde ku Lwokuna ku ssaawa nga 3.30 ez’ekiro, bwe yabadde amuggulirawo geeti eyingira mu maka gaabwe e Bugoloobi.

Nsenga baamututte mu ddwaaliro lya Pragon erisangibwa e Bugoloobi gye baakakasirizza nti afudde. Emmotoka eyamutomedde ey’ekika kya Mark X, ekuumirwa ku poliisi y’e Nagulu.

EBYOBUGAGGA

Abadde n’ebimotoka ebitambuza amafuta 20, loole lukululana 40 ebiriko amannya Nsenga Transporters, nga zisimba ku luguudo nnamba mukaaga olusangibwa mu bitundu by’amakolero. Wano alinawo ekisaakaate ekinene okuli ne galagi mw’abadde azikanikira.

Abadde akozesa abakozi abasoba mu 100. Alina ebizimbe mu Kampala.

OBUZAALE BWE:

Mutabani wa Donald Kananura ow’e Kyeshero mu disitulikiti y’e Kanungu era nga y’omu ku bataka ab’amaanyi mu kitundu kino. 

Kitaawe naye musajja mugagga ng’alina ebyobugagga bingi omuli n’ebizimbe mu Kampala.

Enfa ye :

Omukyala bwe yakomyewo ku ssaawa nga 3.30 ez’ekiro, bba yasangiddwa nga mu nnyumba mw’ali.

Omukyala yavudde mu mmotoka n’anyiga akade k’oku geeti bamuggulirewo era omwami n’asituka okugenda ku geeti okuggulawo.

Omwami yasanze omukyala amaze okudda munda mu mmotoka, era olwagguddewo geeti omukyala n’asimbula n’amutomera.

Omusirikale wa poliisi y’ebidduka ku Jinja Road, Francis Onen agamba nti yamutomedde n’agwa wansi n’amenyeka omukono era n’akosebwa nnyo mu mbiriizi. Yaddusiddwa mu ddwaaliro lya Paragon e Bugoloobi gye yafiiridde.

OKUZIIKA:

Bajeti y’okuziika efulumiziddwa eraga nti kwakumalawo obukadde obusoba mu 40, nga kuliko okukuma olumbe lw’e Bugoloobi wamu ne mu kyalo.

Wajja kubaawo okusaba olwaleero ku ssaawa 10.00 mu maka g’omugenzi, ku Mmande okusaba kwa kubeera mu Klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala , n’oluvannyuma omugenzi bajja kumutwala e Kanungu gy’ajja okuziikibwa ku Lwokusatu.

Abantu bangi ab’emikwano wamu n’ab’oluganda beeyiiye mu maka g’omugenzi e Bugoloobi, okuva ku lunaku lwe yafudde.

POLIISI BY’EYOGERA

Akulira poliisi y’ebidduka ku Jinja Road, Francis Onen ye yakulembedde abasirikale abazze mu kifo kino ng’akabenje kano kaakagwawo era ne baggya sitatimenti ku mukyala w’omugenzi wamu n’abantu abaabadde mu nnyumba.

Onen yagambye nti omulambo gw’omugenzi gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago.

Amaka g’omugenzi gali mu kikomera era okuva ku nnyumba okutuuka ku geeti weesuddewo akabanga. Omusajja ye yamuguliddewo kubanga omusirikale akuuma geeti yabadde avuddewo ng’agenze mu kyalo.

Omugagga eyatomeddwa mukaziwe alese ebyobugagga bya buwumbi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...